Amawulire

Omuloodi wa Kampala Ronald Balimwezo Nsubuga asisinkanye bannannyini makampuni agayaaola kasasiro ne bamuloopera ebibasoomooza

Omuloodi wa Kampala Ronald Balimwezo Nsubuga asisinkanye bannannyini makampuni agayaaola kasasiro ne bamuloopera ebibasoomooza 

Omubak Balimwezo (ku ddyo) n'abamu ku bananyini kampuni z'obwananyini eziyoola kasasiro
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

OMUBAKA wa Nakawa East mu palamenti era nga ye Loodi Meeya omulonde, Eng. Ronld Balimwezo asisinkanye banannyini kampuni z’obwanannyini eziyoola kasasiro mu Kampala n’emiriraano ne bemulugunya ku kugaanibwa okuddamu okuyiwa kasasiro e Buyala kyebagamba nti kigendereddwamu kubalemesa kukola.

Balimwezo (ku ddyo) n'abamu ku bananyini kampuni z'obwananyini eziyoola kasasiro

Balimwezo (ku ddyo) n'abamu ku bananyini kampuni z'obwananyini eziyoola kasasiro

Mu nsisinkano gyebabaddemu e Mutungo, abamu ku baddukanya kampuni zino nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Moses Matovu nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Union of Private Waste and Environment Management bategezezza nga embeera eno bw’ebazingamirizza emirimu.

Ssentebe Matovu yategezezza nti ekibiina kino ekibagatta kyatandikibwawo mu 2016 nga kirimu abantu abasukka mu 100 nga bava mu kampuni ez’enjawulo.

Agamba nti emirimu gyabwe egy’okuyoola n’okususula kasasiro bagikolera mu bitundu omuli Entebbe, Wakiso, Kampala ne Mukono nga bagabidde n’abantu abawerako emirimu.

Agamba nti ekisinze okubatabula kwekubanga baayimiriziddwa okuyiwa Kasasiro e Buyala kyokka nga bulijjo gyebamutwala nga kino kibalesse nga tebamanyi wakumuteeka kyokka nga kibakkatako okuggyayo mu bantu.

Omubak Balimwezo (ku ddyo) n'abamu ku bananyini kampuni z'obwananyini eziyoola kasasiro

Omubak Balimwezo (ku ddyo) n'abamu ku bananyini kampuni z'obwananyini eziyoola kasasiro

Agamba nti baasalawo okutwala kasasiro ono e Katikolo mu Mukono, Entebbe ne Nkumba kyokka nga kino kibatwalira sente nyingi olw’olugendo oluwanvu.

Ssabawandiisi w’ekibiina kino Denis Damulira, ategezezza nti bakkiririza mukugatta omutindo ku kasasiro naye kino tekisobola kukolebwa nga waliwo ebitatambula bulungi.

Yemulugunyizza ku bamu ku bakamababwe olw’okukkirizaako kampuni ezimu ate endala nezigaanibwa ky’agamba nti sikyabwenkanya kubanga nabo betaaga okukola.

Asabye abavunanyizibwa ku nsonga eno okubakkiriza bagira batwala kasasiro e Buyala nga bwebasala amagezi ku kifo ekyenkomeredde webanaayiwanga kasasiro ono.

Alaze obwennyamivu nti singa kasasiro tafunibwa w’agenda kigenda kwongera endwadde mu bantu nga ziva ku kasasiro omungi asigala mu bantu.

Omubaka Balimwezo, ategezezza nti kasasiro ava mu Kampala mungi nnyo nga tosobola kuzibira bamuyoola nga n’abo abaliwo tebasobola kumumalawo.

Abamu ku bayoola kasasiro nga bali mu lukiiko

Abamu ku bayoola kasasiro nga bali mu lukiiko

Asuubizza nga bw’agenda okukwatagana ne bekikwatako okulaba nga ensonga eno enogerwa eddagala.

Omwogezi wa KCCA Daniel NuweAbine ategezezza nti buli ayagala okuyiwa kasasiro e Buyala alina okusooka okufuna olukusa okuva mu KCCA.

Ategezezza nti e Buyala si we wokka webasobola okuyiwa kasasiro kubanga ekyo ekifo kya KCCA nga bwebaba baagala okumuyiwayo balina kusooka kufuna lukusa oba si ekyo banoonye ebifo ebirala gyebasobola okumuyiwa