OMUSAJJA avudde mu mbeera n’afumitafumita munne ebiso ebimusse ng’amulanga kumujooga.
Ivan Ahimbisibwe nga ye nnannyini bbaala ya E-Zone e Lugongwe mu ggombolola y’e Kijuna mu disitulikiti y’e Kassanda nga kuliko ne loogi ye yattiddwa bwe yalwanaganye ne kasitoma gwe yateeberezza okusigula muganzi we.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi yagambye nti bino byabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 7:00 ez’ekiro, Ahimbisibwe bwe yalwanaganye ne Fabrice Mirundi eyabadde azze mu bbaala n’omukazi Pofia Namukasa, muganzi wa Ahimbisibwe. Abaabaddewo baategeezezza nti Namukasa ne Mirundi olwatuuse mu bbaala, Ahimbisibwe n’akwata eccupa ya bbiya n’agiwa Namukasa ekyanyiizizza Mirundi n’asikambula Namukasa amufulumye, Ahimbisibwe n’abagoberera.
Olwatuuse ebweru ne batandika okulwanagana omwabadde n’okutemagana era Namukasa yalabye bitabise n’adduka. Kigozi yagambye nti abakozi ba Ahimbisibwe bwe baamaze akabanga nga tebamulaba kwe kumunoonya era baasanze omulambo gwe gusuuliddwa mu nsiko ne batemya ku boobuyinza.
Poliisi yazze n’eggyawo omulambo n’etandika kunoonyeeza we yasangidde Mirundi ng’ajjanjabibwa mu kalwaliro akamu e Lugongwe n’emukwata.Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Kassanda
AGAMBIBWA OKUTTA ABAFUMBO AKWATIDDWA
Omusajja agambibwa okukkakkana ku bafumbo n'abatta e Kyankwanzi akwatiddwa.
Kiddiridde omutemu, okulumba Awali Ssentongo ne mukyalawe, Doreen Ayebare ng'ali lubuto lukulu n'abatemaatema n'abatta.
Abagenzi baabadde batuuze b'e Kizungu Cell mu ggombolola y'e Ntunda e Kyankwanzi era nga baabalumba mu nju gye baabattira mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga oluwedde. Eyakwatiddwa ye Amon Semakula ng’abadde yaakayimbulwa mu kkomera, ku misango gy’obutemu.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, yagambye nti Semakula abadde asula mu nsiko nga gy'abadde asinziira okutemula n'okubba abantu. Semakula yakkirizza okutta abagenzi n’agamba nti yabasaba ssente ne bagaana okuzimuwa kwe kubatta. Yakkirizza n’okugezaako okutta Kamada Karume n’okuwamba Esther Kamwine