POLIISI ekutte omusajja agambibwa okutta omuyizi w’essomero lya Hill Side SSS e Matugga n’akkiriza omusango n’attottola nti, obusungu bwamulinnya ku mutwe kubanga omulenzi yassussa ejjoogo ng’amaka ge yagafuula loogi.
Hebert Lumu Musaasizi, omutuuze ku kyalo Mabanda e Matugga mu divizoni y’e Gombe mu Nansana Munisipaali, agambibwa okutta omulenzi Martin Bukenya 18, abadde asoma S6 gwe yasanga akajjadde mu maka ge ng’ali ne muwala we (amannya gasirikiddwa) ku lunaku lw’abaagalana nga February 14, 2026.
Okuva ettemu lino lwe lyaliwo, Musaasizi abadde yadduka ku kyalo era Poliisi yamukukunudde Gulu gy’abadde yeekukumye ne bamukunguzza okumuzza e Matugga.
Bwe baamutuusizza teyamalidde Poliisi budde n’akkiriza nti, omusango yaguzza era yejjusa kyokka omulenzi yali assusse okumujooga so ng’abadde yamulabula dda akomye okwerigombera mu maka ge ne muwala we ow’emyaka egitanneetuuka.
Musaasizi yategeezezza poliisi nti, teyagenderedde kutta Bukenya, naye yakikoze mu butanwa n’obusungu kuba omugenzi abadde assussizza ejjoogo nga yafuuka nnyinimu mu maka ge.
Yagambye nti, emirimu agikolera Gulu ng’awaka yalekawo abaana, kyokka omugenzi nga lw’atabeerawo asiiba waka w’asula ne muwala we ku buliri bwe. Olunaku lwe yamusse si lwe yabadde asoose okumukwatira mu nnyumba ye, kuba nga December 11, 2025 yamusanga ali mu kinaabiro ng’ali bwereere tali mu ngoye.
Yakwata omuvubuka n’amukuba ab’emiriraano bwe baawulira akavuvung’ano ne bajja ne basalawo ensonga okuziyingizaamu L.C era ne bayita difensi ne Masita Kayongo nnannyini ssomero lya Hill Side SS e Matugga omulenzi gye yategeeza nti, gy’asomera ne maama w’omuvubuka.
Kayongo yabategeeza nti, omwana ye yamulinako obuvunaanyizibwa bw’okubeera naye kuba yali alemeredde bazadde be. Obudde bwali bwa kiro ne bakkaanya maama w’omulenzi amutwale n’amulabula bw’atayagala kuddamu kumulaba mu maka ge. Enkeera maama wa Bukenya ne Kayongo baakomawo awaka ne batwala abaana bombi ku musaayi ne bakizuula nti, tebalina bulwadde.
OLUNAKU LWE YAMUSSE
Musaasizi agamba nti, yakomawo ku lunaku lw’abaagalana nga February 14 okuva e Gulu gy’akolera n’agenda mu ffaamu gye yazibiza obudde. Kyokka aba ali eyo anyumya n’omukozi w’oku ffaamu ne wabaawo abakazi babiri abajja ne bamutegeeza ku mbeera ebeera awaka nga taliiwo. Omuvubuka yali yabatabula kuba tava waka waasula era w’alya emmere naye nga tamanyiddwa ku kyalo.
“Natema kibooko ne ng’enda n’obusungu awaka era natuukira mu kisenge ky’abaana ne nsanga omuvubuka nga yeebase wansi w’akatanda. Ye yasooka okubuukayo n’ambaka omukono nange ne mmukwata nga bwe tulwanagana.
Namukuba nnyo nga mpulira obusungu bunzita kuba omuvubuka y’omu nnali namukwata ne mmukuba mu December kyokka n’akomawo. Nagenda okuwulira ng’agwa takyalina maanyi ne mmufulumya ku lubalaza nga ndaba waliwo obuzibu ne nneeyongerayo.
Akulira ebyokwerinda ku kyalo Mabanda e Matugga awaakoleddwa ettemu, Hamis Kizito yagambye nti, lwe baasooka okukwata omugenzi mu nju ya Musaasizi baamuyita ne batuula mu nsonga ne balowooza nti, omulenzi aboneredde.
Ku lunaku olwaliko ettemu yali mu lumbe ekiro n’awulira enduulu ne bamukubira essimu nga yagenda okutuuka ng’omugenzi bamutadde ku kabalaza wabweru naye bwe yamukwatako ng’alaga amaze okufa.
Omulambo baagutwala mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago okutuuka abaffamire y’omugenzi lwe bajja. Yavumiridde obusungu obwakozeseddwa Musaasizi. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, Musaasizi waakutwalibwa mu kkooti aggulweko emisango.