Mu mwaka gwa 1976, omugenzi Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga, eyali Ssabepiskoopi w’essaza ekkulu ery’e Kampala, yatandikawo Seminariyo Enkulu ey’Omutuukirivu Mbaaga ey’e Ggaba, okuyamba abavubuka abaafunanga ekirowoozo ky’okufuuka Abasaserdooti ngabakuzeemu, ate ngatebasomeddeeko mu Seminario ento.
Bafaaza nga bateekateeka okusoma mmisa
Seminario y’atandika mukimpowoze, n’Abaseminario 16 bokka. Yatandikira mukusoomozebwa, ngaterina ssente, abasomesa nga batono, ate nga n’ebizimbe bikadde. Seminario eno y’agenda ekula, era nga kati erimu Abaseminario abasukka mu 300, ate nga y’akafulumya Abasaserdooti abasukka mu 400, n’abantu abalala bangi ab;omugaso mu ggwanga, n’ensi yonna.
Gen. Katumba Wamala ng'ali ng'ali ku bikujjuko
St. Mbaaga’s Major Seminary Ggaba y’ajaguzza emyaka 50 bukya etandikibwawo. Omukolo mawuuno gw’abadde ku Seminario, ku Lwomukaaga (February 21).
Missa ey’okwebaza y’ayimbiddwa Ssabepiskoopi Paulo Ssemogerere, ng’ali wamu n’Omubaka wa Paapa Dr Augustine Kasujja, Omwepiskoopi w’e Lugazi Chrisotper Kakooza, Omwepiskoopi w’e Masaka Serverus Jjumba, Omwepiskoopj eyawummula Dr. Mathias Ssekamaanya, Omwepiskoopi w’e Kotido Dominic Eibu, Ssentebe w’Olukiiko lw’Abepiskoopi ba Uganda Prof. Joseph Antony Zziwa, n’Abasaserdooti abaasobye mu 500.

Bafaza nga bali mu nnyiriri
Ssabasumba Ssemogerere y’atenderezza Kalidinali Nsubuga olw’okwolesebwa kweyafuna, obuvumu, n’okukkiriza kweyalina, okwamusobozesa okutandika Seminaiyo eno, gyeyagambye nti kati ssiya ssaza ly’e Kampala lyokka, wabula yansi yonna.
Yeebazzizza Ssenkulu eyasooka, omugenzi Bishop Dr. John Baptist Kaggwa, ne banne abaamuddirira, n’addala omukulu Fr. Dr. Joseph Sserunjogi aliko kati, olw’okukulaakulanya Seminario eno.
Mububaka bwe obw’okwebaza, Fr. Dr. Sserunjogi yategeezezza nti Seminario eno okutuuka weeri kati abadde Katonda. Yeebazizza abantu ab’omwoyo omulungi, n’ebibiina ebigabirizi by’obuyambi, ebyakuno n’eby’ebweru, okugeza ekya Pontifical Society of St Peter the Apostle, Aid to the Church in Need, Missio Austria, Missio Munich ne Friends of the Bishops, ebizze bikwatirako Seminario eno..

kkwaya ng'eyimba mmisa
Ssentebe w’abaasomerako mu Seminario eno, Joachim Masagazi y’agambye nti Seminario yeyabasomesa empisa ez’obugnjufu ez’abafuula abantu ab’enjawulo, n’asaba banne onuteerabira kugyiwagira.
Mububaka bweyatisse minista w Buganda ow’obuwangwa, Antony Wamala, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasiimye Seminariyo ya St. Mbaaga olwokutendedeka n’okufulumya ababatu abalimu ensa, n’asuubuza nti Obwakabaka bwaugenda mumaaso n’okukolagana ne Klezia okutuusa kubantu obuweereza obw’omwoyo n’omubiri ngabwekibadde bulijjo.

Abasirikale ba Paapa
Minista Gen. Katumba Wamala eyakiikiridde gavumenti naye y’asiimye omulimo ogw’ettendo St. Mbaaga’s Seminary Ggaba gw’ekoledde Klezia n’eggwanga. Y’asabye abo bonna abafulumidde mu Seminario eno, nokugabanyiza kubantu abalala ebirungi byebaafunayo, ate n;okubyeyambisa okukyusa obulamu bw’abantu abalala, n’ebitumdu mwebabeera. Ng’ajuliza Omutuukirivu Mbaaga, yasabye Bannauganda okuba n’omutima ogulumirwa abalala, okunnyikira okukkiriza, ate n’okwagala eggwanga lyabwe.

Abamu ku bantyu abeetabye mu bikujjuko bino
Y’asabye abazadde baddeyo kunnono y’okugunjula abaana mu famire, ssossi kubalekera nsi, eggwanga lisobole okufuna abantu abalimu ensa, abaagala era abaagaliza bannaabwe awatali kubasosola, eggwaga lisobole okutebenkera n’okukulaakulana.
Akuuma eitebe ky’Omubaka wa Paapa e Mbuya, Msgr. Georges Kwami Kouwonou naaye yeebazizza St. Mbaaga’s Major Seminary, era n’yanjula n’obubaka, n’Omukisa gw’Obutume Paapa Leo XIV gweyabunduggudde ku ku Seminario eno ng’agyikulisa jubileewo ey’emyaka 50.
Abalala abaakulisizza Seminario eno kwabaddeko Omwepiskoopi Joseph Antony Zziwa ow’e Kiyinda-Mityana, n’Omwepiskoopi Christopher Kakooza o’we Lugazi, eyalaze obwetaavu bwokutandikwao Seminariyo endala, abantu abaagala okweereza Katonda n’abantu be baleme kukugirwa olw’omujjuzo.

Okutona ebirabo
Omukolo gwetabiddwako ne Naggagga Charles Mbire, Hon. Justine Kasule Lumumba, Rt. Hon. Margaret Nantongo Zziwa, eyali Katikkiro Joseph Mulwanyammuli Ssemogerere, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi, n’abalala.
Mukusooka, Ssabasumba Semogerere y’agguddewo ebijjukizo bya Jubileewo okw’abadde ggeeti empya, n’eddiiro ly’abayizi. Ssabasumba era yakwasizza ebirabo abamu kubakoleredde Seminariyo eno mu ngeri ey'enjawulo.
Omukolo gw’atambulidde kumulamwa ogugamba nti: Ekisa Ky’Omukama Naakijjukiranga (Yisaaya 63:7).