Amawulire

Omuserikale w'amakomera avudde mu mbeera n'akuba bakama be amasasi agabattiddewo!

ENTIISA egudde mu kkomera lya gavumenti ery’e Kiboga omuserikale alina okukuuma abasibe bw’akutte emmundu  n’akuba bakama be amasasi agaabatiddewo  oluvannyuma n’agisuulawo n’adduka. 

Omuserikale w'amakomera avudde mu mbeera n'akuba bakama be amasasi agabattiddewo!
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

ENTIISA egudde mu kkomera lya gavumenti ery’e Kiboga omuserikale alina okukuuma abasibe bw’akutte emmundu  n’akuba bakama be amasasi agaabatiddewo  oluvannyuma n’agisuulawo n’adduka.

 

Bino bayabaddewo ku Mmande ku saawa 4:00 z’okumakya ku  kkomera lya gavumenti e Kiboga omuserikale wa makomera nnamba  13544 Moses Anguyo bwe yakutte emmundu n’akuba bakama be abamutwaka ku kkomera lino amasasi agabattiddewo.

 

Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine yagambye nti omuserikale Anguyo yakutte emmundu gy’alina okukozesa okukuuma abasibe n’akuba amasasi agatiddewo ASP Catherine  Hope ngóno ye yabadde akulira abaserikale bonna ababadde ku mulimu ku Mmande , Bright Akishuri nnamba ssatu mu bakulira ekkomera ly’e Kiboga ne Sarah Ayebare mukyala w’akulira ekkomera lino.

 

“Wabaddewo embeera ku kkomera lyaffe e Kiboga omuserikale w’ekitongole bwe yakutte emmundu  n’akuba masasi agattiddewo abantu basatu era naye bwe yamaze okukola kino emmundu n;abaako w’agisuula n’adduka era kati anoonyezebwa” Baine bwe yategeezezza.

 

Yagambye nti oluvannyuma lw’ettemu lino, poliisi yategeezeddwa n’egenda mu kifo oluvannyuma ne basuula emmundu gye yakozesezza okutta baserikale banne nga bakyanoonyereza ekyavuddeko Anguyo okukuba bakama be amasasi.

 

Yategeezezza nti mu kiseera kino Anguyo atwalibwa ng’omuntu ow’obulabe bw’anaasigala ng’ataayaaya n’asaba abantu abamulabye batemye ku poliisi asobole okukwatibwa avunaanibwe omusango gw’okutta. 

 

Tags:
Amawulire
Makomera
Muserikale
Masasi