POLIISI n'ebitongole ebirala ebikuumaddembe, bannyikizza ebikwekweto era nga mu kiro ekikeesezza leero boongedde okukwata abawerako mu Kampala.
Mu Kira, Kamwokya, Kyanja , Kisaasi, Kitifumba, Shimon, Kira taxi park, Mbalwa - Namugongo n'e Wantoni e Mukono, bakutte 28 abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti, abamu ku bano, baliko emisango gy'okusobya ku bakazi, okubba, okunywa n'okutunda enjaga.
Mu KMP South, ebikwekweto bikoleddwa ewa Mukwano, Railway line, 6th street, e Kabalagala, Zzana, Katwe, Salaama, Nakasozi , Buddo Kimbejja, Maggwa- Mpangala, Naggalabi ne Sumba.
Abawera 109 be bayoleddwa era ng'okubasunsulamu , kugenda mu maaso.
Oweyesigyire, agasseeko nti ebikwekweto bikyagendera ddala mu maaso okulwanyisa obumenyi bw'amateeka.