Amawulire

Abajaasi abaalagajjalira ennyonyi y'eggwanga n'egwa bavunaaniddwa

ABAJAASI ba UPDF basatu abaalagajjalira ennyonyi y'eggwanga ekyagiviirako okugwa e Somalia ,basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Abajaasi abaalagajjalira ennyonyi y'eggwanga n'egwa bavunaaniddwa
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

ABAJAASI ba UPDF basatu abaalagajjalira ennyonyi y'eggwanga ekyagiviirako okugwa e Somalia ,basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

 

Bano ye Col. George Buga Andruga 52, nga ye yali akola ogw’okuduumira embuuka z’ennyonyi - Commanding Officer Aviation 111 Unit ow’ekibinja kya UPDF wansi wa African Union Transion Mission in Somalia (ATMIS) , Maj Benjamin Kashumbusha 44 yenyali akulira ebikwekweto mu kibinja ekyo ne Lt Henry Gyagenda 38 yali yinginiya era mu kibinja ekyo mu ggye lya UPDF ery’omu bbanga (UPDAF) nga baali bakolera ku kisaawe ekya Baledogle Military Airfield e Somalia.

Abavunaanibwa mu kaguli ka kkooti.

Abavunaanibwa mu kaguli ka kkooti.

Emisisango gibasomeddwa omulamuzi Col Frederick Kanfwamu owa kkooti y'amagye e Makindye. Bavunaaniddwa gwa kukola ebikolwa ebikyamu ku bikwatagana n’entambula z’ennyonyi era ne babyegaana.

 

Oludda oluwaabi lugamba nti bano nga September 19, 2024 ku kisaawe kya Baledogle e Somalia mu ngeri y’obulagajjavu baasindika ennyonyi AUO-004 ey’ekibinja kya UPDF -ATMIS ,ekyagiviirako okugwa mu bukyamu n’esaanaawo.

 

Omuwaabi wa gavumenti, 2Lt Phillip Olupot ategeezezza kkooti nti okunoonyereza kumpi kuwedde  n’asaba baweebwe olwa April 1, 2026 okutandika okuleeta abajulizi.

 

Abawaabi ba gavumenti abalala kuliko Capt Alex Mukhwana, 2Lt Irene Komuhendo ne 2Lt Davis Bagonza ate Abawawaabirwa bawolerezebwa Elizabeth Nyansingwa ne Capt. Daniel Kagombe.

 

Basindikiddwa mu kkomera Lya magye e Makindye okutuusa nga April 8, 2026 kyokka bategeezezza nti era baakusaba okweyimirirwa.

Tags:
Amawulire
UPDF
Somalia
George Buga Andruga