Amawulire

Leero lwe batukuza empuku ya Maama Maria

LEERO Ssaabasumba Paulo Ssemogerere agenda kukulemberamu omukolo gw’okutukuza empuku ya Biikira Maria ow’e Kibeho, ezimbiddwa mu kifo eky’okwegayiririramu ekipya, ekituumiddwa Our Lady of Kibeho Forest Prayer Park Ggaba.

Leero lwe batukuza empuku ya Maama Maria
By: Mathias Mazinga, Journalists @New Vision

LEERO Ssaabasumba Paulo Ssemogerere agenda kukulemberamu omukolo gw’okutukuza empuku ya Biikira Maria ow’e Kibeho, ezimbiddwa mu kifo eky’okwegayiririramu ekipya, ekituumiddwa Our Lady of Kibeho Forest Prayer Park Ggaba.

Okusinziira ku Dayirekita w’ekibiina kya ‘Nyina wa Jambo’ (Nnyina wa Kigambo) ekiri emabega w’okuzimba ekifo kino, Msgr. Dr. Larry Ssemusu, emikolo gitandika ku ssaawa 3.00 ez’oku makya, nga Ssaabasumba Dr. Paulo Ssemogerere y’agenda okugikulemberamu ku kigo kya Kalooli Lwanga Omutuukirivu e Ggaba.

Pulezidenti w’ekibiina kino mu Uganda, Frank Mawejje asabye abaagala Maama Maria n’Abakristu bonna okwetaba ku mukolo guno n’okweyambisanga ekifo kino okwegayirira n’okwezza obuggya mu mwoyo.

Yagambye nti, abaana ba Maria bangi abaagala okulamaga e Kibeho mu Rwanda, Maama Maria gye yalabikira, naye nga tebalina busobozi bwa nsimbi, oba amaanyi mu mubiri, n’agamba nti bano ekifo kino kijja kubakolera.

Yeebazizza bannakibiina, na bonna abawagidde omulimu gw’okuzimba ekifo kino, kye yagambye nti kyakawemmenta ssente ezikunukkiriza obukadde 150.

Olwa March 27, buli mwaka, lujja kuba lunaku lwa kulamaga mu kifo kino, olw’eggwanga lyonna. Okulamaga okulala kwakubeerangawo buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi.

Tags:
Amawulire
Forest Prayer Park Ggaba.