POLIISI ekutte abantu basatu ababadde bakozesa omutimbagano ne beeyita omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba ne baggya ssente ku bantu okuli n’abaserikale nga babasuubiza okubakyusa ofiisi n’ebifo babateeke mu birala.

Abavubuka abaakwatiddwa
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Diana Nandawula yakakasizza okukwatibwa kw’abavubuka bano n’agamba nti waliwo omuserikale gwe babadde baweereza obubaka ku mitimbagano nga kwe batadde n’okumusaba ssente.
Yagambye nti abaakwatiddwa kuliko Abubaker Othman Ariho, Fahim Bukenya ne Dalton Kaweesi nga kati banoonyerezebwako ku misango gy’okwefuula kye batali n’okukozesa olukujjukujju ne baggya ssente ku bantu. Yagambye nti, abaserikale babadde babafera ng’olukuggyako ssente toddamu kubawuliza.