Mu kulwanyisa obubbi bwa pikipiki za bodaboda n'okuzuula ezo ezizze zibbibwa, poliisi ekoze ekikwekweto mw’eyoledde pikipiki 65 mu Busoga.
Ekikwekweto kino, kikoleddwa mu Busoga East nga muno mulimu disituliki eya Iganga, Mayuge, Namayingo, Bugiri Namutumba,ne Bugweri,
Kiddiridde obubbi bwa pikipiki obubadde bukyase nga n'abamu ku bazivuga bazze battibwa n'okutuusibwako ebisago ne bazibabbako.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Michael Kasadha, agambye nti ebikwekweto bino, bikyagenda mu maaso era nga bannanyini pikipiki eziyooleddwa, balina okugenda n'ebiwandiiko byazo ku poliisi, okukakasa obwannanyini