Amawulire

Abantu babiri abagambibwa okubba embuzi babakubye ne babatta n'emirambo gyabwe ne bagikumako omuliro e Kamuli

By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri abagambibwa okubba embuzi, babakubye ne babatta n'emirambo gyabwe ne bagikumako omuliro  wamu ne pikipiki kwe babadde batambulira. 

Bibadde mu kitoogo ku luguudo oluva e Nagwenyi okudda e Bulopa ku kyalo Bukaibare mu muluka gw'e Nagwenyi e Kamuli, bwe basse abasajja babiri abatannamanyika bibakwatako. 

Babadde ne pikipiki nnamba UFY 817V nayo nga bagyokezza nga ku mabbali, waliwo sseddume w'embuzi erowoozebwa okuba nga gyebabasanze nayo. 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti ababasse baaliba nga bavuzi ba boda boda okuva mu zooni ya Bagaza nga babalumiriza okubba embuzi. 

Avumiridde ebikolwa by'okutwalira amateeka mu ngalo n'agattako nti okubuuliriza, kugenda mu maaso