AMBASADA wa Iran mu Uganda H.E Majid Saffar agenyiwaddeko ku muzikiti e Kibuli n’akuutira abantu bulijjo okunywerera ku kigambo kyabwe n’okusigala ku mazima n’obwenkanya.
Saffar okwogera bino abadde ayogera ku Lutalo olugenda mu maaso wakati wa Iran ne America w’ategeerezza nga America bweyabaggulako olutalo mu bugenderevu kyokka nga mu kiseera kino lubazitooweredde.
Agambye nti America mu kutandika olutalo yali emanyi ejja kulusobola kyokka nga baalabidde awo nga ekintu kitabuse nga mu kiseera kino America esaba Iran esooke eteekeko wansi ebby’okulwanyisa.

Ambasada Saffar ng'ayogera
Ategezezza nti bo nga Iran tebalina buzibu bwonna naye kyebatajja kukkiriza kwekuwummuza eby’okulwanyisa nga America bw’eba etidde olutalo eveeyo ekkirize bakole endagaano ekomekkereza olutalo nga ekakasa nti tejja kuddamu kubalumbagana.
Saffar agumizza bannansi nti tewali kibi kyonna kigenda kubatuukako nga mu kiseera kino buli kimu kiri mu ngalo zaabwe.
Kyokka aweze nga bwebatagenda kuzikiza Lutalo okuggyako nga America ekakasizza nti tegenda kuddamu kubalumbagana.
Akulira Daawa mu Uganda, Sheikh Yasin Kiweewa asiimye nnyo Ambasada Saffar okubafissiza akadde n’ajja n’abalambulako n’amusaba okugenda mu maaso n’enkola ey kubanga enyweza enkoloagana.