MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja agumizza abatuuze ku kyalo Mukonga ekisangibwa mu ggombolola y’e Kalangaalo mu disitulikiti y’e Mityana, abali mu kutya olw’abantu abeeyita bannannyini ttaka, abaagala okubagoba ku bibanja byabwe.
Ku ttaka lino, kuliko n’ekkanisa y’abalokole ey’omusumba Joseph Sasasula, abakaayanira ettaka lino gye batiisatiisa okumenya, era abatuuze baasabye Mayanja abayambe kubanga batudde ku maggwa.
Bino abatuuze baabibuulidde Minisita Mayanja bwe yabalambuddeko ng’ava mu lukung’aana lw’enjiri olwetabiddwaamu ekkanisa okuva mu disitulikiti okuli Kyankwanzi, Kiboga, Kassanda ne Mubende, nga lwategekeddwa ku kkanisa ya Kyamusisi Gospel Messenger’s Church esangibwa ku kyalo yamusisi.
Abatuuze b’e Mukonga nga bakulembeddwaamu amyuka Ssentebe w’ekyalo Yisaaya
Ssuuna, baalombojjedde Minisita ennaku n’obunkenke bwe balimu, olw’okutiisibwatiisibwa nti, essaawa yonna bagenda kugobwa ku ttaka lino.
Omusumba Sasasula yabuulidde Minisita nti ekizibu ekinene kiva ku bantu abasatu nga onna bakaayanira ettaka lino, ng’abatuuze tebamanyi mutuufu we balina kukolagana naye.
Mayanja yabagumizza, n’agamba nti, teri nnannyini ttaka mu mateeka ga Uganda alina lukusa kugoba ba bibanja ku bibanja byabwe era n’abasuubiza nti, agenda kuwandiikira RDC w’e Mityana Prossy Mwanjuzi awe abatuuze obukuumi. Buli anajja okubagoba
ku ttaka nga talina bbaluwa okuva ewa RDC, yabagambye nti, bamukwate bamutwale ku Poliisi avunaanibwe mu mateeka. Abalokole abaabadde mu lukung’aana lw’enjiri baasabye Minisita abatuusize obubaka eri Pulezidenti Museveni, nga bamusaba abakolere oluguudo olumanyiddwa nga Highway, olumuku nguudo Pulezidenti mwe yayita ng’alwana olutalo olw’okwenunula.
Baagala akole n’empuku mwe yeekukuma wakati mu lutalo e Mukonga, bifuulibwe ebijjukizo by’eggwanga. Mayanja yabasuubizza nti, ensonga agenda kuzituusaayo era n’abawa essuubi nti,
zijja kukolebwako.