Amawulire

Agambibwa okubba Piki-Piki e Nansana bamukwatidde Nakasongola

POLIISI e Nakasongola eriko omuvubuka gw'ekutte ku bigambibwa nti yabbye pikipiki okuva e Nansana mu Wakiso ng'agitwala Kalaki

Agambibwa okubba Piki-Piki ng'ali mu kaguli
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Nakasongola eriko omuvubuka gw'ekutte ku bigambibwa nti yabbye pikipiki okuva e Nansana mu Wakiso ng'agitwala Kalaki.

Kidiridde ebifaananyi by'omusajja ono okusaasaanira ku mitimbagano nga kigambibwa  nti yabbye pikipiki n'agenda nayo era omusango guli Nansana ku poliisi ku ref nnamba 06/ 28/ 05/ 2026 gye gwagguddwawo era babadde bamuyigga.

Poliisi y'e Nakasongola ng'eri wamu n'eye Zengebe Marine Detach, ono, bamukwatidde ku kidyeri kw'abadde atambuliza pikipiki nnamba UFS 398E  , okwolekera Kalaki era nga mu kiseera kino ali ku poliisi e Rwampanga.

Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twiineamazima, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.