Amawulire

Abayimbi ba Kadongokamu bakyadde mu UCC Nyombi Thembo n'abawa amagezi g'okufuna mu nnyimba zaabwe

AKULIRA ekitongole  ekirondoola eby'empuliziganya mu ggwange ekya Uganda communications Commision Hon. Nyombo Thembo asisinkanye abayimbi ba kadongo kamu okutema enpenda engeri gyebasobola okwekulakulamya.   

Nyombi Thembo ng'awayaamu n'abayimbi ba Kadongokamu
By: Sulaiman Mutebi, Journalist @New Vision

AKULIRA ekitongole  ekirondoola eby'empuliziganya mu ggwange ekya Uganda communications Commision Hon. Nyombo Thembo asisinkanye abayimbi ba kadongo kamu okutema enpenda engeri gyebasobola okwekulakulamya.

Nnyombi Thembo ng'awayaamu n'abayimbi

Nnyombi Thembo ng'awayaamu n'abayimbi

Ensisikano eno ebadde ku kitebe Kya UCC e Bugolobi abayimbi basoose kulya mmere n'akunywa omwenge, soda n'amazzi.

Nyombi abategeezezza nti Gav't erina enteekateeka nnyingi eri abayimbi ba Kadongo kamu omuli n'okubateerawo enkola mwebagenda  okufuna mu nnyimba zaabwe   

 Abasabye okukwatira ewamu okulaba nga bayambagana. Abalambululidde engeri gyebagenda okukikolamu era nabo bwebagenda n'ebgeri gyebagenda okufunamu.

Nyombi Thembo ng'ayogera eri abayimbi ba Kadongokamu

Nyombi Thembo ng'ayogera eri abayimbi ba Kadongokamu

Sentebe wa bayimbi ba kadongo kamu Fred Sebbata asiimye Nyombi n'amutenderezza kuba tewali bantu bazibu kusanyusa nga bayimbi. Asabye abayimbi bakadongo kamu okutambulira ewamu. Oluvanyuuma abayibi benyini batandise okwesanyusa nga bwebeyimbilamu enymmba zaabwe enkadde olwo bannaabwe ne batandika okubafuwa sente.