POLIISI e Nakasongola eriko omuvubuka gw'ekutte ku bigambibwa nti yabbye pikipiki okuva e Nansana mu Wakiso ng'agitwala Kalaki.
Kidiridde ebifaananyi by'omusajja ono okusaasaanira ku mitimbagano nga kigambibwa nti yabbye pikipiki n'agenda nayo era omusango guli Nansana ku poliisi ku ref nnamba 06/ 28/ 05/ 2026 gye gwagguddwawo era babadde bamuyigga.
Poliisi y'e Nakasongola ng'eri wamu n'eye Zengebe Marine Detach, ono, bamukwatidde ku kidyeri kw'abadde atambuliza pikipiki nnamba UFS 398E , okwolekera Kalaki era nga mu kiseera kino ali ku poliisi e Rwampanga.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twiineamazima, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.