FFAMIRE y’omukungu wa URA, Robert Wamala Lumanyika eyafiiridde mu kabenje mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls ekaabizza abakungubazi nga bannyonnyola engeri nnyina Margaret Namakula gye yazaala abaana mukaaga kyokka abataano bafiiridde mu bubenje.
Lumanyika yafudde ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro kub Ssande, mmotoka Toyota Hiace (drone) UA 21121AA mwe baabadde batambulira nga bava ku mirimu mu bitundu bya Arua bwe yatomedde enjovu.
Omuyimbi Messach Ssemakula yagambye nti, ssengaawe yazaala abaana mukaaga kyokka abana baafa lumu mu kabenje ku luguudo lw’e Jinja ng’abadde asigazza abaana babiri nga kati ne Lumanyika naye afudde mu nfa y’emu. Eggulo omulambo gwatwaliddwa mu Lutikko e Namirembe okusabira omwoyo gw’omugenzi era abakungubazi omwabadde abeng’anda, emikwano ne bakozi banne bazze mu bungi. Okusaba kwakulembeddwa ddiini wa Lutikko y’e Namirembe Dunstan Kiwanuka Maziga, eyasabidde aba ffamire n’emikwano Katonda abagumye era n’amwebaza olw’emirimu gy’amukozesezza.

Margret Namakula ng'ayogera eri abakungubazi
Enjovu yalowoozezza nti baagala kugikolako bulabe, n’eboolekeza obwanga okukkakkana nga Lumanyika n’abalala babiri baluguzeemu obulamu. Abalala n’okutuusa kati bali mu mbeera mbi mu malwaliro.
Nnamwandu Janice Wamala, yayogedde ku bba, n’ategeeza nti bamaze emyaka 10 mu bufumbo obutukuvu n’emirala 10 gye baasooka okumala mu bufumbo bwa kawundokakubyeddirisa. N’agamba nti bba abadde musajja owa ‘vayibu’. Yalaze abakungubazi bamulekwa bataano, omugenzi b’amulekedde ng’abakulu balongo bali mu S3.
Yeebazizza omukutu gw’amawulire ogwa WBS ogwaggulirawo bba ekkubo ly’okumanyika ng’atandika amawulire era ne yeebaza ekitongole kya URA ekibadde kimukozesa w’afiiridde.
Mulekwa, Jinnel Darren Babirye, ku lwa banne yasiimye kitaabwe olw’omukwano gw’abadde abalaga n’okubatendeka ebintu bingi era ne yeeyama ye ne banne okutwala mu maaso kitaabwe by’abatendese.
Ababadde bakola ne Lumanyika mu URA, baakulembeddwa kamisona mu kitongole kino Abel Kagumire eyasomye obubaka bw’akulira ekitongole John R. Musinguzi n’ategeeza nti baafiiriddwa omukozi atazzikawo. Kagumire yagambye nti, Lumanyika azze asuumuusibwa nga w’afiiridde abadde musomesa ku misolo era bingi by’alese atandise ebigenda okusigala nga bigasa eggwanga. Aba URA beeyamye okutambulira awamu ne ffamire y’omugenzi mu mbeera zonna. Obubaka bw’omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa owaakasolya k’ekika ky’Emmamba bwasomeddwa, Katikkiro w’ekika, Kyobe Kyomubazi eyategeezezza nti Lumanyika abadde akola emirimu gy’ekika gyonna