AKULIRA ekitongole ekirondoola eby'empuliziganya mu ggwange ekya Uganda communications Commision Hon. Nyombo Thembo asisinkanye abayimbi ba kadongo kamu okutema enpenda engeri gyebasobola okwekulakulamya.
Nnyombi Thembo ng'awayaamu n'abayimbi
Ensisikano eno ebadde ku kitebe Kya UCC e Bugolobi abayimbi basoose kulya mmere n'akunywa omwenge, soda n'amazzi.
Nyombi abategeezezza nti Gav't erina enteekateeka nnyingi eri abayimbi ba Kadongo kamu omuli n'okubateerawo enkola mwebagenda okufuna mu nnyimba zaabwe
Abasabye okukwatira ewamu okulaba nga bayambagana. Abalambululidde engeri gyebagenda okukikolamu era nabo bwebagenda n'ebgeri gyebagenda okufunamu.

Nyombi Thembo ng'ayogera eri abayimbi ba Kadongokamu
Sentebe wa bayimbi ba kadongo kamu Fred Sebbata asiimye Nyombi n'amutenderezza kuba tewali bantu bazibu kusanyusa nga bayimbi. Asabye abayimbi bakadongo kamu okutambulira ewamu. Oluvanyuuma abayibi benyini batandise okwesanyusa nga bwebeyimbilamu enymmba zaabwe enkadde olwo bannaabwe ne batandika okubafuwa sente.