Amawulire

Kkooti egobye omusango Makerere gwe yawaabira abeebibanja mu Katanga

OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu mu Kampala agobye omusango yunivasite ya Makerere gwe yawaaba ng'eyagala obwannannyini ku bibanja ky’omu Katanga okumpi n'e Wandegeya busazibwemu.

Pr. Walugembe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu mu Kampala agobye omusango yunivasite ya Makerere gwe yawaaba ng'eyagala obwannannyini ku bibanja ky’omu Katanga okumpi n'e Wandegeya busazibwemu.
Makerere yaddukira mu kkooti n'eyagala bagobe Paasita Daniel Walugembe ne Abdul Ssekajja ku bibanja byabwe mu Katanga kyokka omulamuzi Samuel Emokor owa Kkooti Enkulu mu Kampala yagambye nti, ensonga eyo yasalibwawo dda kkooti mu misango egyasooka okuwaabirwa noolwekyo talina nsonga lwaki asazaamu ebyasooka ng’ate bituufu.
Omulamuzi Emokor yagambye nti, Makerere yakyanga emisango ng’ewaaba n’ekigendererwa nti, ob’olyawo eneewangulako ogumu ku misango ebiva mu nsala emu ne biyamba omusango omulala, omulamuzi kye yagamba nti, kyennyamiza.
Walugembe ne Ssekajja baabuulidde kkooti nti, byonna Makerere by’ekola bityoboola nkola ya kkooti.Walugembe ng’ayita mu bannamateeka be aba Mwesigwa Rukutana and Company Advocates yawakanya okuwaaba kwa Makerere ng’agamba baatyoboola kkooti kuba ensonga yali yasalwawo mu July wa 2015.
Omulamuzi yagambye nti, Makerere yalemwa okumatiza kkooti nti, emisamgo ebiri gye yawaaba mu 2000 ne 2021 gyawukana nti, era ettaka lya njawulo wadde nga lyonna liri mu Katanga, n’agamba nti, kkooti yazudde ng’ettaka lye limu.
Makerere yawaaba nti, Walugembe ne Ssekajja tebalinaako kibanja ku ttaka erikayaanirwa yiika 5.13 era babadde basaalimbirako okuva mu 2019 nga baazimbako n’amayumba ng’ate mu 2015 kkooti yawa ensala nti, aba ffamire abaana okuli; Jonathan Masembe, Bulasio Buyisi, George Kalimu ne Samalie Nambogga baali balina obwannannyini obutuufu.
Baali battunka ne Makerere ssaako kamisona w’ebyettaka olw’okusazaamu ebyapa byabwe ng’ate baali babaddeko emyaka egisoba 12. Munnamateeka wa paasita Walugembe, Brian Rubihayo yasanyukidde ensala ya kkooti n’agamba kati omuntu we tajja kusengulwa kuba babadde bateekamu emisango ebiri okuli n’ogw’okujulira.
Okusinziira ku mpapula eziri mu kkooti, ettaka erikayaanirwa liriko yiika 37 nga lyonna liriko abatuuze kyokka Makerere egamba erina yiika 277 okwawukana ne yiika 10.315 eziri ku kyapa ky’erina