Amawulire

Kafeero: Bisirikirwa asitudde olutalo ku by'abaana

NG'ABAANA n'aba ffamire y'omugenzi Paulo Kafeero balinze olukiiko ku byava mu DNA buli omu mw'agenda okumanyira w'ayimiridde, nnamwandu Robinah Bisirikirwa asitudde olutalo.

Paul Kafeero
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NG'ABAANA n'aba ffamire y'omugenzi Paulo Kafeero balinze olukiiko ku byava mu DNA buli omu mw'agenda okumanyira w'ayimiridde, nnamwandu Robinah Bisirikirwa asitudde olutalo.
Bisirikirwa yagambye nti, amanyi nnyo abaana ba Kafeero nti n’abamu ye yabakuza nga bwe yeetegereza n’ajjukira bwe yabanaazanga, baali ba muyimbi oyo ekyali tekyetaagisa kumuziikula kumutemako magumba kwe baakeberedde DNA.

Wabula nnamwandu omulala, Babirye Ntale omusawo w’e Mulago alangidde Bisirikirwa nti, ayise we yandikomye n'atuuka okwogeranga ebingi omuli ne by'atamanyi.
Babirye yeebuuza wa gye yabanaaliza kubanga nti, Bisirikirwa ono yali tabeera mu maka ga mugenzi nga n'abo abaana b’ayogerako, yali tamanyi na gye bali. Agamba nti, ewa Kafeero tewaaliyo mukazi mu maka e Kajjansi wabula omulenzi gwe baakazaako erya Dube (atali Dube mutabani wa Kafeero), eyayambanga ku mirimu gy'awaka.
“Bisirikirwa yabeeranga Nyanama nga Kafeero abeera Kajjansi - Lweza. Baleke DNA eramule naye eby’okunaaza omwana tebirina we bikwataganira na bya buzaale bwe.” Babirye bwe yeebuuzizza.
Agamba nti, Bisirikirwa yayagalana ne Kafeero naye ebbanga teryali ddene. Babirye agamba nti, olw’ebbanga ettono lye baamala, ky’ova olaba nga Kafeero teyazaala mwana mu mukyala oyo kubanga n’emirundi gye baasisinkananga okubaako ne kye bakola okuzaala, gyali mitono okutuusa omuyimbi oyo lwe yafa, omukyala oyo n’azaala mu musajja omulala.
Kyokka Bisirikirwa mu kuddamu, agamba nti, abatamanyi Kafeero tebamutegeera kubanga yali akola bingi bye bataamanyanga okuggyako ye (Bisirikirwa) eyali munne ennyo. Agamba nti n’oluyimba lwa Kafeero olwa Bisirikirwa yaluyimba ku ye n'agamba nti, omuyimbi oyo yalina amaanyi matono mu nkwaso ze. N'agamba nti eyo y’ensonga lwaki Kafeero gwe yali yeekuumiddeko bwe yafa, yafuna omuntu omulala eyamuzaalamu.
Ekyo akijulizaako n’abasawo abamu e Najjanankumbi abaalabula Kafeero nti bw’ataakendeeze mwenge, gujja kumukendeeza enkwaso era kye gwakola.
Annyonnyola nti abaana ba Kafeero abakulu, be batuufu abalala baabamusiba era ye n’omugenzi baakimanya.
Kyokka Babirye yawakanyizza eky'enkwaso za Kafeero okubeera ennafu n’agattako nti, Kafeero yali tasobola kugenda ku bya kumukebera nkwaso kubanga yali tayagala kugenda mu malwaliro okuggyako ng’atuuse ku ssa ly'okufa.
“Kafeero yali azaala kubanga nange nali mukyala we era mmumanyi nti amaanyi yali alina,” Babirye bwe yagambye kyokka bwe yabuuziddwa lwaki ate naye teyamuzaalira, yazzeemu nti, ye ne Kafeero baalina ebibatawaanya naddala eby’abaana omuyimbi oyo be yamuwanga okubajjanjaba ng’ayagala asooke akuze abo, naye alyoke azaale ababe nga bali bavudde awabi.
Babirye agamba nti, Kafeero yafa alemeddwa okutegeera Bisirikirwa kyokka ate Bisirikirwa agamba nti, omuyimbi yafa nga ye muntu gw’asinga okwesiga kubanga yalaajana n’okulaajana ng’alaga obulumi olw’obutazaala mwana mu Bisirikirwa. Bisirikirwa agamba nti, Kafeero yali yeekengedde ku ky’abantu be yalaba nga bagenda kukumpanya ebyobugagga bye, kyokka nga ye (Bisirikirwa) gwe yasinga okwesiga tamuzaddeemu.
Agattako nti okumanya yali amwesiga, yamulekera n’ekyapa ky’ettaka lye erya yiika ezigenda mu 30 e Masaba-Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe we baamuziika. Ekyapa Babirye akkiriza nti Bisirikirwa y’akirina ne muganda wa Kafeero omuto, Abubaker Nende bw’atyo bw’akimanyi.
Kyokka bombi balowooza nti Bisirikirwa akirina mu bukyamu nga yakifuna mu magezi. Kyokka Bisirikirwa agamba nti, Kafeero yakimuwa mu mukwano ogw’amaanyi nga ye yekka gwe yeesiga okukikuumira abaana be

Tags: