Amawulire

Ssaabawolereza wa Gav't Sam Mayanja akakasizza ga bw'agenda okukozesa office empya okusigala ng'alwanyisa abagobaganya abantu ku bibanja

Ssabawolereza wa gavumenti omuggya Dr. Samuel Mayanja,  alabudde okuteeka omukono gw’ekyuma ku bagobaganya ab’ebinja nga tebayise  mu mateeka, ng’akozesa ofiisi  empya gyayingidde.   

Dr Sam Mayanja ng'ayogera
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Ssabawolereza wa gavumenti omuggya Dr. Samuel Mayanja,  alabudde okuteeka omukono gw’ekyuma ku bagobaganya ab’ebinja nga tebayise  mu mateeka, ng’akozesa ofiisi  empya gyayingidde.
Abyogeredde ku kkanisa ya Caring Hearts Victory Community Church  e Kaggala mu  town council y’e Kakiri e Wakiso,  ng’eno gyasabira ng’omu ku basumba abakulu (senior pr) mu kkanisa,  okusaba okutugekeddwa ab’ekkanisa eno  nga bakulembeddwaamu omusumba Paul Musisi, okwebaza  katonda olw’okulondebwa kwa Dr. Mayanja mu ofiisi ya ssabawoleereza wa gavumenti.

Dr Sam Mayanja ssabawolereerza wa gavumenti omuggya mu kusaba

Dr Sam Mayanja ssabawolereerza wa gavumenti omuggya mu kusaba


Ssabawolereza  Mayanja asinzidde wano n’alabula abagobaganya abantu ku ttaka mu mankwetu nti bubakeeredde, kubanga ate kati  agenda kukozesa ofiisi empya gyafunye okulwanyisa ababbi b’ettaka.
  N’alabula nti, tagenda kawummula ppaka ng’ekola y’enfuga y’amateeka egobereddwa buli wamu, etteeka bweriba ligamba nti ow’ekibanja  wa ddembe okweyagalira obulungi ku kbanja kye,  baakuligoberera ppaka liteekeddwa mu nkola  kubanga ofiisi ye  emuwa ebbeetu okukozesa amateeka obulungi okuyamba abanyigirizibwa.   
Yeebazizza  katonda okumutuusa ku kifo kino ekinene, neeyeebaza ne Pulezidenti Museveni okumulabamu omulamwa n’amwongera ekifo eky’amaanyi  kino okwongera okuweereza eggwanga mu nfuga y’amateeka ennungi, neyeebaza ne bannayuganda olw’okulonda pulezidenti Museveni mu bungi naawangulira waggulu mu kulonda okuwedde.

Robina Mayanja mukyala wa Dr Sam Mayanja

Robina Mayanja mukyala wa Dr Sam Mayanja


Okusaba  kwetabiddwamu abakulembezze b’ekitundu ab’enjawulo okubadde; meeya wa town council y’e Kakiri Moses Bagala, Ssabakunzi wa NRM Rosemery Nansubuga Sseninde, ba ssentebe b’ebyalo mu Wakiso, Jovan Agaba kaminsona mu URSB, n’abakkiriza.
 Ssabakunzi wa NRM Rosemery Senninde ayozaayozezza Mayanja olwa offisi eyamuweereddwa, n’ategeeza nga bwebagenda okumweyambisa okubawabula  mu mateeka mu bintu ebitali bimu, akubirizza abantu  okwetaba mu kalulu ka ba ssentebe b’ebyalo  akabindabinda basobole okufuna abakulembezze abalungi.
Omusumba Paul Musisi akulira ekkanisa eno, obubaka bwe asinze kubuyisa m unyimba zebayimbe ne Mayanja nga beebaza katonda okumutuusa mu ofiisi ennene bwetyo , naasaba abantu bulijjo  okuweeranga katonda obujulizi nga balina amakula gebatuseeko nga Dr. Mayanja.
Mukyala wa Dr. Mayanja Robina Mayanja naye yeebazizza katonda olwa ofiisi bba gyeyafunye, naye ayimbye ennyimba ez’enjawulo okumwebaza.
Tags: