Amawulire

Akakiiko kataddewo obukwakkulizo ku kulonda kwa LC

AKAKIIKO k’ebyokulonda kataddewo obukwakkulizo obupya ku kulonda bassentebe b’ebyalo bwe kategeezezza nti buli mulonzi okusimba ennyiriri alina okubeera n’akakonge.

Tusiime (ku kkono) ng’akwasa abalondesa ebigenda okukozesebwa mu kuwandiisa abalonzi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda kataddewo obukwakkulizo obupya ku kulonda bassentebe b’ebyalo bwe kategeezezza nti buli mulonzi okusimba ennyiriri alina okubeera n’akakonge.

Akulira ebyokulonda mu disitulikiti y’e Wakiso, Aida Tusiime yasinzidde mu kutendeka abalondesa ku ggombolola n’agamba nti abanaaba bawandiisiddwa ku lukalala lw’abalonzi mu kitabo ky’ekyalo, be bokka abagenda okukkirizibwa okusimba mu migongo gyabo abeesimbyewo okwewala emivuyo.

“Omulonzi gwe basoma ku lukalala, yekka y’agenda okukwasibwa akakonge agende mu kibangirizi awali okulonda era ng’okusimba layini omuntu alina kusooka kulaga kakonge kuba kye kimu ku byetaago ebyatereddwaawo akakiilko,” Tusiime bwe yagam bye. Kino kikoleddwa okumalawo emivuyo egizze gibeerawo mu ku londa kw’okusimba mu mugongo.

Tusiime yakkaatirizza nti obukonge obuneeyambisibwa bulala ku bwakozesebwa mu kulonda okuwedde. Buno bwakukolebwa nga bwa njawulo era bwe banaasoma erinnya ly'omulonzi nga bamuwa akakonge ng'ayingira we balondera. Atalina kakonge tagenda kukkirizibwa kutuuka we balondera.

Fatumah Kitimbo akulira ebyokulonda mu munisipaali y’e Ntebe yagasseeko nti akakonge kano kaakuyambako abantu ababadde balonda nga tebali ku lukalala ne kivaako abantu okulwanagana. Yasabye abantu okwewandiisa mu bungi kuba enkalala ze banaakola za kyalo nga tezikwatagana na za kulonda kw’eggwanga.

Chemutai (ku  kkono) ne  Ssebuufu abakulira akakiiko  k’ebyokulonda  mu NUP.

Chemutai (ku kkono) ne Ssebuufu abakulira akakiiko k’ebyokulonda mu NUP.

Yagambye nti okwewandiisa kwa kyeyagalire kyokka okulonda kw’abo abeewandisizza bokka. Yalabudde abategese okulondanga tebeewandisizza, nti tewaliajja kukkirizibwa kuba ekyalo gy’alaze kijja kuba tekimumanyi.

Yayongeddeko nti okuwandiisa abantu, okulonda n’enteekateeka endala ez’akakiiko zigenda ku kolebwa mu lujjudde okwewala okwemulugunya okubaddewo.

Abagenda okulondesa 27 be baatendekeddwa mu ggombolola ezikola Wakiso nga bano baakuutiddwa obutasaba bantu ssente okubawandiika, obutakola nsobi ezinaavaako mivuyo ng’okukuutiza ekitabo n’obutasosola mu bantu.

EBIBIINA BYOBUFUZI BIRAZE BWE BYETEGESE

Ebibiina by’ebyobufuzi eby’enjawulo biraze engeri gye byetegekeddemu okulonda kwa L.C okwokubeerawo nga July 28, 2026 ku byalo 71,230 okwetooloola eggwanga.

NRM YAAKUJJUZA EBIFO EBIKALU

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka NRM, Dr. Tanga Odoi yagambye nti ekibiina kyategeka akamyufu emyaka egiyise mwe baalondera abanaakwatira ekibiina bendera okuvuganya ku bwassentebe bwa L.C.

Kyokka olw’okuba akalulu kano kazze kongezebwayo abamu ku baali baakwasibwa bendera baafa, abalala ne basengukira ku byalo ebirala nga mu kiseera kino balina okujjuza ebifo byabwe.

Akamyufu k'ekibiina ak'okujjuza ebifo bino kwakubeerawo okuva nga July 10-14, 2026. Okuva nga June 29 - July 1, 2026 ze nnaku ze bataddewo okuggyayo empapula abaagala obwassentebe mu bifo ebyavaamu abantu.

NUP ERAZE ENTEEKATEEKA

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka NUP, Harriet Chemutai yasabye bannakibiina bonna okujjumbira enteekateeka y’okuwandiika abalonzi ku byalo kuba olukalala lw’abalonzi ba L.C lwawukana ku lweyambisibwa mu kulonda okwayita.

Akakiiko kayise bonna abeeggwanyiza okuvuganya ku bwa ssentebe bw’ebyalo emiruka

n'obukiiko bw'abakyala okutandika okukima empapula okuva mu bukiiko obwateereddwaawo mu buli buli konsitityuwensi obukulirwa abakulira okukunga abawagizi.

Okussaayo okusaba kw’okwegwanyiza ebifo kwa kukomekkerezebwa nga July 6,

batabaganye abeegwanyiza okuvuganya ku kaadi y'ekibiina nga July 7-9, 2026. Nga July 10, 2026 baakufulumya amannya g’abanaaba baweereddwa kaadi ge bagenda okuweereza eri akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina.

Abanaaba tebamatidde balagiddwa okutwalayo okwemulugunya kwabwe okuva July 11-12, 2026. Avunaanyizibwa ku kulondesa mu Buganda, John Mary Ssebuufu yasabye abavubuka okwenyigira mu kulonda kuno mu bungi.

DP BEETEGESE BULUNGI

Amyuka ssaabawandiisi wa DP, Christine Mugerwa Kasule yagam bye nti akalulu bakeetegekedde bulungi era mu nnaku ezitali z’ewala bagenda kufulumya ennambika eneegobererwa abaagala okwesimbirawo ku kaadi y’ekibiina.

Ekirungi kye balina buli disitulikiti ya Uganda erimu ssentebe wa DP alina sitampu era abanaaba basunsuddwa waakubakooneramu sitampu. Mu kiseera kino, bakubiriza abantu okwetegekera okwewandiisa mu nkalala z’abalonzi kuba atabeere mu lijesita tajja kukkirizibwa kulonda wadde okwesimbawo.

ABA UPC SI BAMATIVU

Amyuka omwogezi wa UPC, Faizo Muzeyi yagambye nti beetegese bulungi era baamala okusunsula abantu be bagenda okusimbawo ku byalo ebisinga mu ggwanga.

Kyokka gye batannaba bakubiriza bannakibiina okwekolamu omulimu nga bayita mu nkola y’okukkaanya balabeko asinga ebisaanyizo gwe baba basimbawo.

Yagambye nti nga ekibiina wadde bagenda kwetaba mu kulonda, si bamativu n’enkola y’okusimba mu mugongo kuba eviirako obukyayi engeri abatuuze bonna gye bali ba ku kyalo kimu nga n’abamu bamiriraano.

Tags: