OMUSAJJA agambibwa okutema ente ya mutuuze munne olw'okwonoona ebirime, embwa ya poliisi emukutte.

Ejjambiya egambibwa okukozesebwa mu kutemaatema
Omukozi ku ffaamu y'akedde okugiraba era n'atemya ku mukama awe poliisi n'etwala embwa { Gaza} era ng'esoose kuzuula jjambiya eyakozeseddwa mmita nga 100 mu nnimiro ya kasooli.
Ate era n'eddamu n'ewunyiriza okutuuka mu mmita nga 600 n'esibira mu maka ga Steven Tumusiime era nga waliwo n'amatondo g'omusaayi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi agambye nti bakutte abantu basatu okuli Amos Tumwine , Caleb Aijuka ne Joshua Abaho era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.