Abantu basatu abagambibwa okwekobaana mu bubbi bwa pikipiki obwabadde ku Freedom City e Namasuba mu Kampala, bakwatiddwa.
Poliisi yasoose kukwata Dan Mukasa agambibwa okuba ng'abadde yaakava e Luzira gy'amaze emyaka 6 ku misango gy'obubbi.
Kigambibwa nti ono aludde ng'atigomya abantu b'e Bombo, Kaweweeta, Namayingo ne Namasuba naddala mu bubbi bwa pikipiki.
Kitegeezeddwa nti Mukasa agambye nti mu kugibba, baali ne Ali Kimera era n'agattako nga bwe yabadde etwaliddwa mu paakingi emu mu Kikajjo , ng'eyo gye baagikwatidde ne Charles Kabugo .
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti Kimera baamukwatidde mu emu ku garagi za pikipiki mu zzooni y’e Wansanso e Katwe.