POLIISI y'e Nakasongola eyigga abaatemudde omukazi ow'abaana omukaaga omulambo gwe ne bagusuula mu nsiko.
Pauline Acca 30, omutuuze ku kyalo Nakayonza mu ggombolola y'e Lwabyata mu disitulikiti y'e Nakasongola ye yatemuddwa. Omulaalo Moses Musaazi eyabadde alunda ente ye yagudde ku mulambo gwe n'atemya ku boobuyinza.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti bazze n'embwa ekonga olusu n'ebayamba okubaako gwe baakutte abayambeko mu kunoonyereza.
Omulambo gwasangiddwaako ekiwundu ku mutwe ate ng'akawale k'omugenzi ak'omunda kali awo ku mabbali. Gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Nakasongola okwekebejjebwa nga bwe banoonyereza.
Omugenzi kigambibwa yaliko mukyala w'omu ku baaloopye omusango ku poliisi kyokka ne baawukana ng'amuzaddemu abaana musanvu.