ABAGAMBIBWA okuba ababbi , basimattuse okugajambulwa abatuuze, bwe basuddewo emmotoka omuli ente bbiri ezigambibwa okuba enzibe ne babulawo.

Ente ezigambibwa okuba enzibe ze baasudewo.
Mu bukambwe obw'ekitalo, ente zino nga zombi nkazi, eziroowoozebwa okubbibwa okuva e Kayunga, bwe bamaze okuziggya mu mmotoka, ne bagikkakkanako yonna ne bagyonoona wakati mu kuwera enkolokooto nga bwe bakooye ababbi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso nga bwe bayigga ababbi bano.

Mmotoka ekika kya Noah abatuuze gye baayasizza egambibwa okuba eya babbi.