Amawulire

Akabinja akabba amasimu n'okugakyusa poliisi ekakutte n'ezuula essimu 127

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto ku babba amasimu n'ekwata akulira okugula amasimu amabbe naddala Iphone n'agakyusa era ezudde amasimu 127 agateeberezebwa okubeera amabbe.

Akabinja akabba amasimu n'okugakyusa poliisi ekakutte n'ezuula essimu 127
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto ku babba amasimu n'ekwata akulira okugula amasimu amabbe naddala Iphone n'agakyusa era ezudde amasimu 127 agateeberezebwa okubeera amabbe.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti, abaserikale ku poliisi e Katwe be baakoze ekikwekweto kino mu Kisenyi ku Top City Plaza. 

Mugerwa Eyakwatiddwa

Mugerwa Eyakwatiddwa


Eno Richard Mugabi omu ku babbi ab'olulango yabbye essimu Iphone ku muserikale mu mmotoka n'akwatagana ne Frank Mwesigwa ne baginoonyeza akatale.


Yategeezezza nti, bwe baakutte Mugabi, abaserikale ku poliisi e Katwe baamukunyizza n'alonkoma munne Mwesigwa naye eyakwatiddwa nga July 21, 2026. 


Bano baakulembeddemu abaserikale ne babatwala ku Cooper Complex ewa Juma Mugerwa amanyiddwa nga Dan gwe baagiguzizza ku mitwalo 90.

Mutesi gwe baafunzizza

Mutesi gwe baafunzizza

Kawala yagasseeko nti, ku dduuka baasanzeewo Sumayiya Mutesi, muganzi wa Mugerwa ng'aliko amasimu g'aggyamu ebigakwatako ng'akozesa ekyuma. 


Abaserikale baakutte Mutesi ne bamukunya wabula n'agaana okwogera Mugerwa gy'ali. Abaserikale waliwo owa bodaboda gwe baakutte n'abatwala e Bunamwaya Mugerwa gy'asula.

 

Wabula baasanze ennyumba nsibe era baamukukunudde mu mmotoka ye mwe yabadde yeekwese. Mu mmotoka ya Mugerwa, baasanzeemu amasimu 120 agateeberezebwa okubeera amabbe g'agula ku bagabba n'agakyusa ebigakwatako n'addamu okugatunda.

Mwesigwa agambibwa okugula amasimu amabbe.

Mwesigwa agambibwa okugula amasimu amabbe.


Mu kunoonyereza poliisi kwe yakoze yakizudde nti, Mugerwa agula amasimu I phone zokka ezirimu layini nga nazo baziteeka mu kyuma ne baggyako ssente eziri ku Mobile Money.


Kawala yakoowodde ababbibwako amasimu naddala Iphone bagende ku poliisi e Katwe bakeberemu agaabwe.

Tags:
Masimu
Paaka
Mpya
Kukwata
Cooper Complex