Minisita w'obutebenkevu mu ggwanga Maj. Gen. Jim Katugugu Muhwezi asabye abavubuka okwewala okukozesa obubi emikutu gimugatta bantu wabula bafube okulaba nga bakolerako ebyo ebibakulakunya
Muhwezi yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti ye Rukungiri, ku mukolo gw'okulayiza olukiiko lw'abavubuka n'olw'abakadde nasaba abavubuka okwewala okukozesa yintaneeti nga baseketerera Gavumenti.

Muhwezi (ow'okusatu ku ddyo) ne Tumukunde mu kulayiza olukiiko lw'abavubuka n'abakadde
"Yintaneeti ssi mbi naye tulina okumanya bwetugikozesa kuba kintu kikulu nnyo abavubuka n'abaana abato okufunirako emirimu, okutundirako bizinensi zaabwe olwo kibayambe okwongera ku nnyingiza yaabwe." Muhwezi bweyayongeddeko.
Ye Minisita w'ekikula ky'abantu n'abakozi, Lt. Gen Henry Tumukunde yasabye abantu mu Rukungiri okukozesa baminisita ababiri bebaafunye okulaba nga babaako edaala eddala lye batukako.
Yagambye nti Gavumenti etaddewo pulogulamu ez'enjawulo ezikulakulanya okuli Emyooga ne PDM nga zino ziyambye abantu bangi okukyusa embeera zaabwe nebongera nekunnyingiza mumaka gaabwe.
"Okusinga okukola obubinja obuvumirira abalala, mwettanire enkola zino kibayambe okulwanyisa obwavu era kibayambeko n'okwewala ebikolwa by'obumenyi bw'amateeka." Tumukunde bweyayongeddeko.

Muhwezi ng'aliko byawandiika
Yagambye nti basanyufu nnyo olw'okuba Pulezidenti Museveni yabawadde Minisita ava mukitundu kyabwe, kyeyagambye nti kigenda kubayamba okutuusa obwetaavu bwabwe eri Pulezidenti mubwangu kuba balina ekkubo mwebayita.
Yayongeddeko nti okuva Pulezidenti bweyabawa Minisita w'obutebenkevu mu ggwanga, Maj Gen Jim Muhwezi, ebikolwa by'obumenyi bw'amateeka byaakendeera mu disitulikiti wadde nga waliwo obutonotono obukyaliwo wadde nga nabwo bajja kubulinnya ku nfeete.
Muhwezi ne Tumukunde beyamye okuyamba ku bavubuka n'abakadde bano nga baabasabye bakole SACCO zaabwe olwo obuyambi buyite omwo okusinga okuwa omuntu sekinoomu