Bya Cissy Gubala
BANNABYABUFUZI okuva mu bibiina eby'enjawulo beekubidde enduulu eri ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu aka Human Rights Commision nga baagala akakiiko kasseewo okunonyereza ku kifo ekimanyiddwa nga Basement bannayuganda abakwatibwa gyebatwalibwa.

Mariam Wangadya akulira akakiiko k'eddembe ly'obuntu ng'asisinkanye bannabyabufuzi okuva mu bibiiba eby'enjawulo
Bannabyabufuzi okwekubira enduulu bakukoze nga balowooza nti akakiiko k'eddembe ly'obuntu bwekanaakola okunoonyereza kuno kiyinza n'okuyambako okuzuula munnabyabufuzi munnnaabwe eyali omubaka wa Butambala era nga ye mumyuka wa Pulezidenti wa NUP mu Buganda Muwanga Kivumbi oba ali mu basement oba taliiyo.
Omu ku baali babaddeko mu kifo eky'ogerwako ekya Basement Jacklyn Tumushaba ategeezezza nti ssaabbiiti essatu zeyamalayo yakosebwa nnyo mu bwongo era embeera eyo tayinza kugyerabira.