SIPIIKA wa palamenti, Jacob Oboth ategeezezza nga bw’akyetaaga essaala okwongera okuzuula ky’alina okukola mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ku palamenti.
Pr. Bujjingo N'abamu Ku Bakulembeze B'ekkanisa Nga Basabira Sipiika Jacob Oboth
Oboth yeebazizza Katonda olw’okumwesigisa ekifo ekyo mu ngeri y’ekyamagero n’ategeeza nti ku bubwe teyandisobodde kusiguukulula sipiika eyaliko Anita Among.
Okufuuka sipiika yagambye teyateekamu ssente yonna okuggyako ze yasasula mu kusunsulwa. Ng’atuukiriza obuvunaanyibwa obwamuweebwa okukubiriza palamenti, agambye nti akyetaagira ddala essaala mpitirivu okwongera okuzuula ekyo Katonda kyayagala akole.
Pr. Bujingo Ng'akwasa Sipiika Oboth Bayibuli
Okuva lweyayingira ofiisi,yagambye yategeeza abayambi be nti yetaaga okusisinkana abalyowi b’emyoyo wabula nga ku lukalala lw’a balina okumusisinkana bakulembeza bannabyabufuzi.
Omusumba Bujingo amusabidde n’amukwasa Bayibuli gye yayise engabo era ekitaala, emulung’amye mu kukola emirimu.
Engeri Oboth gye yafunamu obukulembeze ajoogeddeko ng’eragira ddala nti mulonde wa Mukama era n’amukakasa nti teri ddogo , kivume wadde ekikolimo ekijja okumweng’anga.
.
Palamenti ey’e 12, agisuubira okukira ku y’ekkumineemu naddala mu bwerufu, n’okulondoola ssente y’omuwi w’omusolo.
Akyesigamizza ku nkwataga gye yayise ennungi eri wakati wa sipiika Oboth n’akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Joel Ssenyonyi oluvannyuma lw’okutegeeza nti okuva palamenti bwe yaggulibwawo mu May, 2026 tabawulirangako nga basika omuguwa.
Okutondawo enkolagana ne basipiika bombi ssaako obukiiko obw’enjawulo yagambye Ssenyonyi kye yeetaaga okukola okwanguyibwa okumulungula ensonga z’aba yeemulugunyaako.