Amawulire

Omuti gukubye omuzimbi abadde ku kalina waggulu n'afa ng'atuusibwa mu ddwaaliro

Bibadde mu zzooni ya Kitikifumba mu munisipaali y'e Kira e Wakiso, omuti bwe guvudde waggulu ne gukuba omuzimbi abadde ku kalina ku mwaliiro ogw’okusatu n'agwa wansi n’afa.

Omuti gukubye omuzimbi abadde ku kalina waggulu n'afa ng'atuusibwa mu ddwaaliro
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuzimbi abadde yeewanise ku kalina waggulu, omuti gumukubye n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro .

Bibadde mu zzooni ya Kitikifumba mu munisipaali y'e Kira e Wakiso, omuti bwe guvudde waggulu ne gukuba omuzimbi abadde ku kalina ku mwaliiro ogw’okusatu n'agwa wansi n’afa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti okunoonyereza oba nga waabaddewo obulagajjavu, kugenda mu maaso.

Mu ngeri y'emu era poliisi e Kira eri mu kuyigga omukazi eyaggyeemu olubuto lw'omwana ow'emyezi omusanvu, n'amusuula mu kaabuyonjo y'ekkannisa e Kamwokya mu Kampala.

Tags: