Amawulire

Bakuutidde Abalokole okwewala entalo n'okukolagana obulungi n'abantu abalala

ABASUMBA mu nzikiriza y'Abalokole abali wansi wa Heal the Planet mu Kampala n'ebitundu ebiriraanyewo batandiise okusabira eggwanga mu nnaku essatu ze baalondawo.

Bakuutidde Abalokole okwewala entalo n'okukolagana obulungi n'abantu abalala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUMBA mu nzikiriza y'Abalokole abali wansi wa Heal the Planet mu Kampala n'ebitundu ebiriraanyewo batandiise okusabira eggwanga mu nnaku essatu ze baalondawo.

‎Okusaba kwatandise ku Mmande nga Aug 24 e Nsambya Sharing Hall nga bagenda kusabira eggwanga okutuusa ku Lwokusatu nga Aug 26, 2026 wansi w'omulamwa nti tewali kitasoboka awali Katonda.

Okusaba kuno nga kukulembeddwamu omusumba atwala Breath of the Spirit Ministries okuva mu ggwanga lya America, Michelle Corral. Okusaba baakutambuliza ku kwewala entalo n'okukolagana obulungi n'abantu abalala.

Corral yakuutidde Bannayuganda okwewala entalo awamu n'okulwanagana kino kibasobozese okubeera n'emirembe wamu n'okwewala abantu okubundabunda n'okuyaggayagga.

Omusumba Corral era yakuutidde abakkiriza okutambulira mu bukkakamu obwenjawulo ate nga tebeenyigira mu ntalo n'omuntu yenna buli ky'okola okikole mu ngeri y'Obwakatonda.

Mu buweereza obw'ennaku ssatu mugenda kubeeramu n'okugabira abantu abawangaalira mu mugotteko gw'e Katanga eby'okulya, eby'okunywa n'engoye z'okwambala mu nkola y'okulaga omutima omulungi nga ebyawandiikibwa bwe biragira.

Omusumba Michelle Corral atwala Breath of the Spirit Ministries okuva mu ggwanga lya America

Omusumba Michelle Corral atwala Breath of the Spirit Ministries okuva mu ggwanga lya America

Omusumba Corral yagambye nti kino akikola mu kujaguza amazaalibwa ga Mother Teresa naye eyakolanga ebirungi eri abantu mu ggwanga lya Buyindi.

Dr Earnest Kivumbi eyakulembeddemu enteekateeka eno ey'okusaba kw'abasumba yagambye nti okuva enteekateeka eno lwe yatandika eyambye abantu bangi okuva mu bwetaavu.

Tags: