Amawulire

Sino truck eyambalaganye ne Fuso abantu 2 ne bafiirawo ku lw'e Gulu

ABANTU babiri baafiiridde mu kabenje ddereeva wa Sino Truck bwe yeekanze Fuso eyabadde agiva mu maaso  ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu, n'egwa ne yeefuula, ababiri abaagibaddeko ku musenyu emabega, ne bafiirawo.

Sino truck eyambalaganye ne Fuso abantu 2 ne bafiirawo ku lw'e Gulu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri baafiiridde mu kabenje ddereeva wa Sino Truck bwe yeekanze Fuso eyabadde egiva mu maaso  ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu, n'egwa ne yeefuula, ababiri abaagibaddeko ku musenyu emabega, ne bafiirawo.

 

Kano kabadde Naluvule, Sino Truck ebadde etisse omusenyu nnamba UBJ 984 L bwe yeekanze  Fuso nnamba UBA 879L nayo ebadde egezaako okwewala okutomera lukulana nnamba CGO 6435AC / 07 egibadde mu maaso .

 

Kigambibwa nti olw'amataala agabadde gaaka ennyo, ddereeva wa Sino Truck yagiwugudde n'egwa n'ettirawo babiri abaagibaddeko emabega.

 

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twiineamazima, agambye nti okubuuliriza ku kyavuddeko akabenje, kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Ggulu
Sino Truck