Amawulire

Abatuuze bakkakkanye ku musibe atolose mu kkomera ne bamukuba ne bamutta!

Derrick Kasumba amanyiddwa nga Kalevu 30, abadde atolose okuva mu kaduukulu ka poliisi y'e Mannyogaseka  e Kassanda , y’attiddwa mu bukambwe, abatuuze bwe bamutaayizza ne bamukkakkanako ne bamukuba bubi nnyo.

Abatuuze bakkakkanye ku musibe atolose mu kkomera ne bamukuba ne bamutta!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABATUUZE bakkakkanye ku musibe abadde atolose okuva mu kaduukulu ka poliisi, ne bamukuba ne bamutta nga bakissa ku poliisi, okumuyimbula.

Derrick Kasumba amanyiddwa nga Kalevu 30, abadde atolose okuva mu kaduukulu ka poliisi y'e Mannyogaseka  e Kassanda , y’attiddwa mu bukambwe, abatuuze bwe bamutaayizza ne bamukkakkanako ne bamukuba bubi nnyo.

Kigambibwa nti ono abadde ku misango gy'okumenya ennyumba n'okubba era ng'atolose okuva ku muserikale Aaron Nalyanya , abadde amuwerekera okugenda mu kaabuyonjo.

Oluvannyuma lw'abatuuze okukitegeerako nti atolose, bamusanze ku  kyalo Lwenyange ne bamukuba , poliisi etuuse mu kifo n'emutaasa kyokka babadde baakamutuusa ku ddwaaliro lya Kyansaswa Health Centre III nga wayise eddakiika nga 40, n'akutuka.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti bayigga abo bonna abatwalidde amateeka mu ngalo , era n'avumirira eky'abasibe okutoloka nti nakyo , kikyamu.

Tags:
Kutta
Batuuze
Kutoloka
Kkomera
Bantu
Musibe
Atolose