Amawulire

Ab’omu Kisenyi balaajanye ku kaabuyonjo ezitamala

ABATUUZE b’omuluka gwa Kisenyi II mu Kampala Central basabye KCCA  ubazimbira kaabuyonjo z’olukale kiyambeko okutumbula obuyonjo n’okufuna abantu we beeyambira.

Hajati Buzeki nga yeenyigidde mu kulongoosa n’ab’omu Kisenyi abalala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUUZE b’omuluka gwa Kisenyi II mu Kampala Central basabye KCCA  ubazimbira kaabuyonjo z’olukale kiyambeko okutumbula obuyonjo n’okufuna abantu we beeyambira.


Ssentebe w’omuluka guno Hajji Swaib Juma Kenyi yagambye nti kaabuyonjo eziriwo tezimala bw’ogegeraageranya n’obungi bw’abantu ate nga n’abazirina ziri mu bikomera ekiviirako abamu okweyambira mu buveera ne bakasuka mu mifulejje ne mu kasasiro.

“Ekimu ku bijja okuyaba omuluka gwa Kisenyi II okutumbula obuyonjo kwe kufuna kaabuyonjo z’olukale kuba eziriwo tezimala bantu baliwo era tusaba KCCA etukwatireko,” Kenyi bw’agamba.
Yagambye nti kaabuyonjo baakuzissaako amateeka kisobozese okuzikuuma obulungi ng’abaana abatasussa myaka 12 tebasasula ssaako abakyala ab’embuto.

Kkansala omukazi ow’ekitundu kino ku lukiiko lwa Kampala Central, Margaret Nakubulwa yagambye nti omuluka gwonna gwetaaga kaabuyonjo z’olukale 4 okufunira abantu we beeyambira ng’ebimu ku byalo ebiri mu bwetaavu kuliko; Kakajjo, Kasaato ne KigandaAkulira KCCA, Hajati Sharifah Buzeki yagambye nti okusobola okuzimba
kaabuyonjo z’olukale abakulembeze n’abatuuze balina okuwayo ebifo KCCA esobole okubazimbira kuba ssente z’okuzimba weeziri wabula ez’okugulaettaka ze zitaliiwo.

Yagambye nti abantu balina okukuuma obuyonjo kiyambeko okulwanyisa endwadde omuli omusujja, ekiddukano n’endala.Akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yakubirizza abantu okweggyako kasasiro kyokka baleme kumala gamumansa balinde kkampuni KCCA ze yawa ttenda okumuyoola.

Yagasseeko nti abalina kaabuyonjo ezijjudde baleme kuziteera mumyala kuba be basaasaanya obukyafu era KCCA yassaawo empaka mu munisipaali za Kampala okulondako esinze obuyonjo ng’omuwanguzi waakulangirirwa mu December.

Tags: