Amawulire

Abakubirizza okutambulira ku mulamwa

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okukozesa omubala Pulezidenti Musevenigwe yawa ekisanja kino kye yalaga nga ekitali kya kwebaka era eky’okulwanyisa enguzi, bave mu mize gye babadde beenyigiramu.

Msgr. Katende (ku kkono) ng’asembeza Gertrude Nambi owa P.4 n’abayizi abalala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okukozesa omubala Pulezidenti Museveni
gwe yawa ekisanja kino kye yalaga nga ekitali kya kwebaka era eky’okulwanyisa enguzi, bave mu mize gye babadde beenyigiramu.

Byayogeddwa Msgr. Wynand Katende akulira Namugongo Kyoto bwe yabadde akiikiridde Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere mu Mmisa gye yakulembeddemu ku Kampala Parents omwabadde okuwa abaana essaakalamentu lya Kofirimaasiyo, okufuna Komunyo emberyeberye ate n’abamu okweyatulira.
Bwe yabadde ayigiriza, gr. Katende yajjukizza Bannayuganda omubala gw’ekisanja kino ogugamba nti ‘Teri kwebaka’ era eky’okulwanyisa enguzi n’asaba buli muntu okubeera omusaale mu kulwanyisa emize gy’enjawulo.
Yakyukidde n’abeenyigira mu kulya enguzi ’abagamba nti kino kye kiseera beddeko kuba bafiirizza eggwanga ekimala nga mu kiseera kino balina okwekuba mu kifuba.
Yatenderezza abakulira essomero lya Kampala Parents School okumanya amakulu g’omwana okutuukiriza amasaakalamentunga bakyali bato ne kibayamba okukula nga bamanyi Katonda.
Mu ngeri y’emu, yakubirizza abaafunye essaakalamentu lya Kofirimansiyo okukozesa ebitone bya ‘Mwoyo Mutuukirivu’ bye baafunye okugasa abalala n’okubeera abantu abalungi mu nsi.
Akulira essomero lino Daphine Kato, yasabye abazadde okukozesa oluwummula okwongera okuyigiriza abaana eddiini kuba oyo akuze nga tamanyi Katonda, ne bw’ayitira waggulu ebigezo, tasobola kuba wa mugaso mu nsi. Omukolo gwetabiddwaako eyali Sipiika wa Palamenti ya EALA, Margrate Nantongo Babu era nga ye Ssaabakristu w’ekigo kya St. Jude e Naggulu mu Kam-

Tags: