Amawulire

Abavubuka abaalabikira ku tiktok nga beewaana nga bwe bayiwa abantu amannyo poliisi ebakutte

AKABINJA k'abavubuka abeekutte vidiyo nga beewaana nga bwe baliko abantu abawerako be bazze bakuba ebikonde ne babayiwa amannyo okuva mu kamwa n'okubawogola emba, nga bababbako amasimu , ssente n'ebyabwe, poliisi ebakutte.

Abavubuka abaalabikira ku tiktok nga beewaana nga bwe bayiwa abantu amannyo poliisi ebakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

AKABINJA k'abavubuka abeekutte vidiyo nga beewaana nga bwe baliko abantu abawerako be bazze bakuba ebikonde ne babayiwa amannyo okuva mu kamwa n'okubawogola emba, nga bababbako amasimu , ssente n'ebyabwe, poliisi ebautte.

 

Obutambi buno omuli abavubuka abawera nga munaana buzze butambula ku mitimbagano, ng'ebivubika bino, biraalika abasawo b'amannyo nabo okubayiwa amannyo mbu kuba babaweereza abalwadde ab’okukolako bangi naye tebabawa ku ssente.

Mu kino, baabaddenga abagamba nti buli muntu gwe baanyagako amasimu, ssente oba ebintu ebirala, baasookanga kumukuba bikonde ne bamuggyamu amannyo, n'okumuwogola emba,  olwo abasawo abakola ku mannyo ne bafuna emirimu gy'okugazzaamu n'okubanyiga ebiwundu.

 

Poliisi ya old Kampala ekoze ekikwekweto mu Gojo Gym e Namungoona mu muluka gw'e Lubya e  Rubaga mu Kampala, ne bakwata Munaana nga bana ku bo, baalabikira mu katambi kano.

Ono ye yakulembeddemu banne nga bakwata vidiyo.

Ono ye yakulembeddemu banne nga bakwata vidiyo.

Abaakwatiddwa, kuliko Mohammed Matiti amanyiddwa nga Beast Commander , Noordin Kasule amanyiddwa nga 2 I/C , Umar Mubiru , Adams Lukooya, Martine Kiyimba, Yosam Junior Alinda, James Walumu ne Elvis Simanya.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Reaheal Kawala, agambye nti kaweefube w'okuyigga abalala , akyagenda mu maaso nga n'abo be bakutte, babasanze n'ebigambibwa okuba enjaga.

Tags:
Amawulire
Bavubuka
Poliisi ebakutte