KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubuka ba Buganda okwezimbamu obukugu obunabawanguza mu mirimu gy'ebakola.
Mayiga agamba nti obukugu buno bwebwegatta ku nnyingo okuli obuyiiya, obunyikivu, okukolera mu bweruufu ate n’okukola buli kintu n’okwagala.

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku bakulembeze ba Nkobazambogo
Okwogera bino abadde ku mukolo kwatongolezza obukulembeze obuggya obw’abayizi Bannakibiina kya Nkobazambogo mu ggwanga lyonna nga gubadde Bulange- Mmengo emisana ga leero.
Minisita wabavubuka,emizannyo n’ebitone, Ssalongo Robert Sserwanga alangiridde olukiiko olukulembera ekibiina kya Nkobazambogo mu Uganda nga lukulemberwa Racheal Nalujja eyawangudde banne n’ebisanyizo ebisukkulumu omwaka guno.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
Nalujja wakumyukibwa Pius Kizito okuva mu Uganda Martyrs University e Nkozi, Omuwandiisi ye Wasswa Paul Muwonge, Omukubirizza w'Olukiiko ye Sylivia Nakamatte, Munnamateeka w'olukiiko ye Ssemanda Araphat Kakooza, James Ssango ye Munnamawulire ng'ono asomera ku Kyadondo Technical Institute n'abalala.
Minisita Sserwanga era yeebazizza obukulembeze bwa Ssentebe abaddeko, Moses Ssemujju olw’emirimu gyerukoze okuli okulambulanga bannaabwe mu bitundu by’eggwanga byonna era n’alambulula omulimu ogukoleddwa minisitule ye mu kukumakuma abavubuka.
Ye Omubaka wa Bukoto South,Munnankobazambogo Hakim Kizza Sawula asinzidde ku mukolo guno n’akunga abavubuka okufuba okuyiga byonna ebibayigirizibwa mu kutendekebwa kuno mu bukulembera era bakwate butiribiri kubanga bijja kubanga mu ngeri yonna eyo mu maaso neeyebaza n’abavubuka bano olw’okukuuma ekibiina kino.

Katikkiro Mayiga mu kifananyi n'olukiiko lwa Nkobazambogo mu Uganda abaggya
Moses Ssemujju nga ye Ssentebe wa Nkobazambogo awummudde agambye nti obuwereeza buno obw’omwaka omulamba babutambuliza ku mulamwa ogugamba nti omuvubuka omuteeketeeke ye Buganda ey’enkya nga muno basobodde okutegeka Ttabamiruka wa Bannankobazambogo bonna mu ggwanga, Ttabamiruka w’abakulembeze, okulambula abayizi bonna byebasangibwa mu mattendekero n’ebirala bingi.