Amawulire

Don Chris bamusomedde emisango emirala 350

DON Chris ng’amannya ge amatuufu ye Christian Asiimwe 32, ebintu byongedde okumwonoonekera bw’akomezeddwaawo mu kkooti n’asomerwa emisango emirala 350 egy’okuggya ssente ku bantu ng’abalimbye okubatwala ku kyeyo.

Don Chris ng’ali mu kaguli ka kkooti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

DON Chris ng’amannya ge amatuufu ye Christian Asiimwe 32, ebintu byongedde okumwonoonekera bw’akomezeddwaawo mu kkooti n’asomerwa emisango emirala 350 egy’okuggya ssente ku bantu ng’abalimbye okubatwala ku kyeyo.
Yazzeemu okusimbibwa mu kkooti ya City Hall n’asomerwa emisango emirala okwongera kw’egyo 217 egyasooka okumuvunaanibwa nga kati giweze 567 wabula gyonna agyegaanyi.

Don Chris nga ye nnannyini SKYPINS, olwatuusiddwa mu kaguli, oludda oluwaabi olwakulembeddwa Grace Miriam Akite, ne lutegeeza nti terusobola kweyongerayo na kuwuliriza misango egyasooka olw’okufuna emisango emirala 350 egimuvunaanibwa ate nga bakyasuubira okufuna abeemulugunya abalala.
Oludda oluwaabi lwategeezezza nti, kigambibwa nti wakati wa 2023 ne 2025, Don Chris n’abalala abakyanoonyezebwa ku kkampuni ye eya Skypins Tours and Travel e Ntinda, yafuna obukadde 10 okuva ku Lawrence Okiror ng’amusuubizza okumufunira omulimu e Canada.
Yafuna 6,700,000 okuva ku Edward Nkalubo okumutwala e Luxembourg okumufunira omulimu, 4,700,000 okuva ku Mathias Kasule okumufunira omulimu e Canada, 9,000,000 okuva ku Sinan Matumbwe Kasumba okumufunira omulimu e Canada, 9,350,000 okuva ku Robinah Kiiza okumutwala e Canada okukola ne 9,000,000 okuva ku Jeremiah Karigan okumutwala e Canada
Era yafuna 9,200,000 okuva ku Jenipher Ajalo okumutwala e Luxembourg okukola, 6,200,000 okuva ku Ivan Byaruhanga okumutwala e Canada okumufunira omulimu, 7,500,000 okuva ku Adrian Isaac Okello okumutwala e Canada n’abalala bangi.
Asiimwe yaweebwa olwa September 21, 2026 okutandika okuwuliriza obujulizi ku misango 127 egyasooka okumusomerwa.
Abamu ku bavunaana Don Chris abajjuzza kkooti, tebaasanyukidde kikolwa kya mulamuzi kukkiriza kumuwa katebe ng’okumusomera emisango kugenda mu maaso.
Omulamuzi Nicholas Aisu omusango agwongezaayo okutuusa nga October 20, 2026

Tags: