Amawulire

ABAZZE BATTIBWA OBUBINJA BW’ABAMENYI B’AMATEEKA

l Eyali Kapiteeni wa Sports Club Villa, David Owori, yattibwa abavubuka nga August 4, 2026 mu Dubai Zone mu Makindye. Owori baamukuba ejjinja lya Peeva ku mutwe ne bamutwalako essimu ye ekika kya iPhone 14 Pro Max n’ebintu ebirala.

Abaserikale nga beekebejja eddirisa eryayasiddwa ku nnyumba, Tusiime mwe yabadde ne Moses Matovu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

l Eyali Kapiteeni wa Sports Club Villa, David Owori, yattibwa abavubuka nga August 4, 2026 mu Dubai Zone mu Makindye. Owori baamukuba ejjinja lya Peeva ku mutwe ne bamutwalako essimu ye ekika kya iPhone 14 Pro Max n’ebintu ebirala.
l Eyali ssentebe wa LCI Church Zone e Kamwokya, James Kakooza yatemulwa abavubuka abaali batambulira ku boda okuliraana Centenary Park mu Kampala.

Baamutta ku makya ku ssaawa nga 12:20 bwe yali akola dduyiro ku luguudo.
l Omugagga w’omu Kampala, Eriya Sebunnya Bugembe, eyali amanyiddwa nga Kasiiwuukira yattibwa nga October 17,2014. Mmotoka eyamutta yamutomera ku makya ku ssaawa nga 12 ez’oku makya, ng’akola dduyiro okuliraana amaka ge e Muyenga.
l Yowasi Kasawuli yattibwa nga April 2, 2022 e Namugoona, mu munisipaali y’e Lubaga mu Kampala. Abaamutta baamuzinda mu maka ge mwe yali asula, ne bamutta ne banyaga amasimu n’ebintu by’amasannyalaze ebirala.
l Susan Alweny yattibwa nga October 1, 2022 mu bitundu by’e Kiwaatule ku ssaawa nga 3 ez’ekiro bwe yali ayimiridde okugula ebyokulya. Alweny eyali omutuuze w’e Mbalwa mu Munisipaali y’e Kira, baamukuba ejjinja lya peeva ku mutwe, ne bamunyagako essimu ye n’akasawo.
Winnie Kobusinge yattibwa nga September 9,2022 ku ssundiro ly’amafuta erya Shell e Kiwaatule ku ssaawa nga 12:30 ez’oku makya. Abaamutta baamunyagako ssente ne batwala n’essimu ye ey’omu ngalo.
l Muhammad Hakyare naye yakubwa ejjinja lya peeva n’attibwa, mu zzooni ya Nakibinge e Kibuli mu December wa 2024. Kigambibwa nti Hakyare yali mmemba mu kabinja ak’omutawaana aka Al-Qaeda akajojobya abantu b’e Kibuli, era banne be baamutta ng’agezaako okubatangira okukuba omuyizi w’essomero gwe baali baagala okuwandiika mu kibinja kyabwe n’agaana. l Charles Ssengooba eyali omutuuze w’e Masajja A mu Makindye Ssabagabo, yakubwa abavubuka peeva ku mutwe, ne bamunyagako essimu ye ne ssente nga March 17,2025. Ssengooba yali musuubuzi wa byakunywa ow’amaanyi mu Masajja, era kigambibwa nti abaamutta baamulondoola ava ku mulimu, bwe baatuuka awali akazikiza ne bamukuba. l Eyaliko Omuduumizi wa UPDF, Maj. Gen James Kazini yatemulwa nga November 10, 2009 e Namuwongo mu
Kampala bwe yakubwa ekintu ku mutwe . Kkooti oluvannyuma yasingisa munikini we Lydia Draru omusango ogw’okutta Kazini n’aweebwa ekibionerezo kyakusibwa emyakja 14 wabula n’ayimbulwa mu 2021 ng’ebibonerezo tekinnagwaako.

Tags: