Amawulire

'Mweyambise emirembe egyaleetebwa Gavt. okulwanyisa obwavu'

Omwano gw'ekibiina kya NRM Barbara Nekesa atenderezza emirembe Gavumenti ya NRM gy'ewadde Bannayuganda n'abakuutira okugyeyambisa okulwanyisa obwavu nga beenyigira mu kukola.

Omuwanika w'ekibiina Kya NRM Barbara Nekesa, ssabakunzi w'ekibiina Rosemary Sseninde, omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda Joseph Sewava nga bali wamu n'abagole
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omwano gw'ekibiina kya NRM Barbara Nekesa atenderezza emirembe Gavumenti ya NRM gy'ewadde Bannayuganda n'abakuutira okugyeyambisa okulwanyisa obwavu nga beenyigira mu kukola.

 

Okwogera bino yabadde mugenyi mukulu ku mukolo gw'okwanjula ogw'omu ku bannakibiina, Don Vincent Bwana ogwayindidde Bulindo e Kira mu disitulikiti y'e Wakiso.

Yawadde eky'okulabirako nti olw'okuba eggwanga lirimu emirembe kati bannansi basobola okukung'aana ebbanga eppanvu ne bakola emikolo nga egy'okwanjula nga tebalina bweraliikirivu bwonna bwa butali butebenkevu nga bwe kyali nga pulezidenti Museveni bweyali tannajja mu buyinza .

 

Yakuutidde abagole okubeera eky'okulabirako ekisooka nga beenyigira mu kukola saako n'okuwang'ana ekitiibwa .

Rosemary Ssenninde ng'awa abagole amagezi

Rosemary Ssenninde ng'awa abagole amagezi

Omukolo guno gwasitudde ebikonge omwabadde ne Ssaabakunzi w'ekibiina kya NRM Rosemary Sseninde , eyategeezezza abagole nti yaakamala mu bufumbo emyaka 43, bw'atyo nakuba omugole omukyala akaama nti takemebwa nga okukebera essimu ya bba bw'aba ayagala okukuuma obufumbo bwe wabula essira asinge kuliteeka ku ku muwa kitiibwa .

 

Abayimbi abenjawulo okwabadde Spice Diana , Stecia Mayanja , Pallaso  baacamude abagenyi ku mukolo guno era bakira babinuka masejjere .

Omugole Beatrice ye yayanjude mwana munne Don Vincent Bwana mu maka g'abazadde be era abazadde baabasibiridde ekibanja batandikireko okwekulaakulanya nga beetaba mu bulimi n'obulunzi.

Tags:
NRM
Rosemary Ssenninde