RDC we Nansana Charles Lwanga alagidde Poliisi ye Matugga okukwata abagambibwa okumenya ennyumba ya Nkubakyeeyo Moses Ssempebwa era bano bakwatiddwa ne bateekebwa ku kabangali ne batwalibwa ku Poliisi ye Matugga.

Abamu ku bakwatiddwa ku biragiro bya RDC
Bano bagezezzaako okwennyonnyolako naye tekibayambye era Muzeeyi Galiwango Isaac ategeezezza nga ye bweyakuumanga matiriyo wa Ssempebwa era bwati bwanyonyodde.

Omu ku bakwatiddwa kubiragiro bya RDC
Wano RDC Lwanga wasinzidde n'ategezza nga bwavumirira ekikolwa kino kubanga nabo tebakirizibwa kumenya nyumba yamuntu yeno nga talina Kooti Order era nalagira abantu bano okukwatibwa.
Wano Nkubakyeeyo Ssempebwa Moses nga bwekimuyambye kubanga abantu abo bamukoera endagano nemikono gyabwe nebajjiteekako.