OMUSUUBUZI w’omu Ndeeba eyakuba abaserikale ba Flying Squad amasasi alumbye omugagga gw’abanja ng’awera; ‘olwaleero tufa ffenna’.
Godfrey Muhiirwa yasimbudde ku dduuka lye eritunda yingini z’amaato erya Martmix Auto Company Ltd mu Ndeeba ng’amaliridde. Yagambye nti, “omusajja ono mubanjizza ebbanga ddene n’amasimu gange takyagakwata, leero nfa naye.”
Poliisi yamukutte ayingira omulyango ogumutwala mu ofiisi y’omugagga Christopher Ssaazi ku Yamaha Center mu Kampala gw’alumiriza nti, yamuwa obukadde 350 okumusuubulira yingini z’amaato okuva e Japan n’atazireeta.
Muhirwa yasitudde engugu omwabadde omufaliso, bulangiti n’engoye okuva ku dduuka lye n’alinnya bodaboda eyamututte ku Yamaha Center ng’agamba nti, yabadde agenda kugumba ku kizimbe kino okutuusa ng’alabye Ssaazi bubeefuke.
Agamba nti, yasooka kusasula obukadde 238 oluvannyuma nga April 24, 2019, yawa Ssaazi ssente endala 100,000,000/- (obukadde 100) era Ssaazi n’aziteeka ku akawunti ye eya Housing Finance Bank.
Zino agamba nti, yazisasula mu mannya ga Nile Fishing Company ey’omugagga Ssaazi nnannyini Yamaha Center amuleetere yingini z’amaato ez’ekika kya Yamaha okuva e Japan.
Okuva lwe yamuwa ssente ezo, yagambye nti, kati omwaka mulamba n’ekitundu amukubira essimu tazikwata ekyamuwalirizza okulumba ofiisi y’omugagga amuwe ssente ze.
Muhirwa olwabadde okutuuka ku kizimbe ekiri mu Kampala wakati, abaserikale ba poliisi eyabadde eduumirwa akulira ebikwekweto ku CPS, Ivan Nduhura baabadde nga be baatemezzaako edda.
Baamukutte ne munne gwe yabadde naye ne babakasuka ku kabangali ya poliisi ne babatwala ku CPS mu Kampala gye baabaggalidde ne batumya n’ebintu byabwe bye baabadde nabyo.
“Emmundu eriwa?’ Abaserikale bwe baabuuzizza Muhirwa nga bamwaza bwe yabadde yaakatuusibwa ku poliisi.
Mu 2014, Muhirwa yakuba abaserikale ba Flying Squad basatu amasasi agaabattirawo nga kigambibwa nti, baali baagala kumubba.
Mohammad Kiwana, Deo Jaaya ne Matia Busuulwa abaali bakolera Flying Squad battibwa Muhirwa, bwe yabakuba ebyasi nga baakamala okumuggyako ssente 20,000,000/-.
Kiwana ne banne, baatuukirira Muhirwa ne bamugamba nti, waliwo omugagga eyali abaguze bamutte ne bamusaba obukadde 30 bamubuulire eyabaguze. Yeenyoola nabo n’abeegayirira abawe obukadde 20, Kiwana n’alemerako ng’ayagala 30.
Kigambibwa nti, yabatega akatego n’abagamba nti yali wa kusooka kubawaako 20 endala bazifune nga bamaze okumubuulira ayagala okumutta, n’afuna abaserikale okuva mu kitongole kye kimu bamutaase ku Kiwana n’ekibinja kye.
Oluvannyuma, Muhirwa yatwalibwa mu kkooti n’aggulwako omusango gw’okutta abantu basatu n’okubeera n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka kyokka oluvannyuma, nga February 4, 2019, omulamuzi wa kkooti enkulu Steven Mubiru yamuggyako emisango gyonna.
Kino, kyaddirira omuwaabi wa gavumenti Fatia Nakafeero okutegeeza kkooti nti, mukama we, Mike Chibita yali asazeewo okuggya enta mu misango egyali givunaanibwa Muhirwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, baakutte Muhirwa naye oluvannyuma lw’okubannyonnyola nti yabadde azze kuteeseganya ne gwe yabadde abanja, baamuyimbudde ku kakalu ka poliisi n’agenda.