Gavt. erabudde abazannya firimu ez'ennaku  mu kiseera kino

GAVUMENTI erabudde  abazannya firimu eziraga okusoomoozebwa n'ennaku mu kiseera kino. Okulabula kuno kukoleddwa abakungu b’ekitongole ky’ebyempuliziganya ekya UCC abaakulembeddwaamu Nyombi Thembo.

Gavt. erabudde abazannya firimu ez'ennaku  mu kiseera kino
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI erabudde  abazannya firimu eziraga okusoomoozebwa n'ennaku mu kiseera kino. Okulabula kuno kukoleddwa abakungu b’ekitongole ky’ebyempuliziganya ekya UCC abaakulembeddwaamu Nyombi Thembo.

Bwe yabadde aggulawo omukolo gw’okutandika okusiima abazannyi ba firimu abanywedde mu bannaabwe akendo mu 2020, ku Acacia Mall, Thembo yalabudde Bannakatemba okukomya okuzannya firimu ez’ennaku z’okusoomooza ng’ate abantu balina ebintu bingi bye baagala omuli: okumanya ebyefaayo by’eggwanga, ebyobulambuzi n’ebirala ebibazzaamu essuubi n’amaanyi ebigenda okubeerabiza ennaku n’okusikiriza Gavumenti okubateekamu ssente.

Mathiew Nabwiiso (wakati),  Eleanor Nabwiiso (ku Kkono) Ne Nana Kaga,

Mathiew Nabwiiso (wakati), Eleanor Nabwiiso (ku Kkono) Ne Nana Kaga,

Collins Asiimwe Ng'ayogera.

Collins Asiimwe Ng'ayogera.

Byabadde ku mukolo  ogwatuumiddwa "Uganda Firimu Festival 2021" era nga gwetabidwaako abazannyi ba firimu abaamannya okwabadde; Dila Dilman, Tracy Kababiito, Nana Kaga, Mathiew ne Eleanor Nabwiiso (abazannya mu firimu ya Hostel) gye buvuddeko. 

Ye kitunzi mu kkampuni ya MultiChoice, Collins Asiimwe ne kafulu w'okulamula empaka za firimu mu ggwanga Matt Bish bawadde abazannyi ba firimu amagezi okutandika okukozesa ennimi zaabwe ennansi  okuzannya firimu ez'omulembe mu kifo ky'okwesiba ku Luzungu olubalemesa okweyagalira mu kitone kyabwe olw'obutalutegeera bulungi nga bannanyini lwo (Abazungu).

Abawanguzi baakuweebwa omukisa firimu zaabwe okulagibwa ku mukutu gwa Multichoice ogwa "Pearl Magic Prime".