Ronaldo akomyewo mu ManU gye yasooka okukolera erinnya

Aug 28, 2021

Oluvannyuma lwa ManU okulangirira nti etuuse ku nzikiriziganya ne Juventus okubaguza omuzannyi Cristiano Ronaldo  ku Lwokutaano, Ronaldo yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter nti "mpangudde ebintu ebimala ku Juventus".

NewVision Reporter
@NewVision

Omuzannyi ono ow’emyaka 36, obututumufu bwe bwatandikira mu myaka 6 gye yamala mu ManU okuva mu 2003 okutuuka mu 2009 nga tanneegatta ku Real Madrid.

Yafuuka sserinnya ku Madrid, bwe yateeba ggoolo 450 mu mipiira 438 mu myaka 9 omuli okuwangula ebikopo bya Champions League n’awangula n’eky’omuzannyi w’omupiira asinze mu mwaka mu nsi yonna (Ballon d'Or) emirundi 4.

Ronaldo yeegatta ku Juventus mu 2018 n’awangula ebikopo bya Liigi ya Yitale (Serie A) 2.

"Leero nva mu kiraabu eno esinga obunene mu Yitale era gye nkakasa nti y’emu ku zisinga obunene mu Bulaaya," Ronaldo bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Instagram.

-”Sserinnya akomyewo” -

Awagizi ba United baamaze essaawa 24 ng’emitima gibeewanise olw’ebyabadde biyiting’ana nti Ronaldo yabadde egenda kwegatta ku Manchester City bwe bavuganya.

Kyokka, Omutendesi wa United, Ole Gunnar Solskjaer bwe yabadde eyogerako ne bannamawulire mu kwetegekera omupiira gwa Wolves ku Ssande yakoonye ku kya Ronaldo bwe yagambye nti:

"Cristiano Sserinnya mu ManU, ye muzannyi akyasinze okuzannya akapiira bukya ensi eno ebaawo, nze eyazannyako naye bwe ndowooza.

"Bulijjo tuwuliziganya bulungi naye. Nkimanyi nti ne Bruno (Fernandes) abaddenga ayogerezeganya naye. Amanyi bwe tuwulira gyali. Bw’aba agenda kuva mu Juventus, akimanyi nti tuli wano."

Ronaldo Mu Juventus

Ronaldo Mu Juventus

Omukutu gwa Sky Sport Italia gwategeezezza nti ManU yaakusasula Juve obukadde bwa Euro 28 ze Doola obukadde 33, era bwe bukadde bwa pawundi 24), ku ndagaano ya myaka 2 nga Ronaldo waakufunanga obukadde bwa Euro 25 buli sizoni.

Bino we bijjidde nga United efubye okwongera amaanyi mu ttiimu mu kadirisa kano bw’eguze  Jadon Sancho ne Raphael Varane nga baagala okuwangula Premier League omulundi ogunaaba gusoose bukya Sir Alex Ferguson mu 2013.

Ronaldo ttiimu gye yeegasseeko erimu abavubuka envuumuulo abawuwuttanyi Solskjaer kw’alina okulonda omuli; Sancho, Bruno Fernandes, Edinson Cavani, Marcus Rashford, Anthony Martial, Mason Greenwood ne Paul Pogba.

Asuubirwa okulabikira mu mupiira gwe ogunaaba gusoose ng’akomyewo mu United awaka ku Old Traford nga bazannya ne Newcastle nga September 11.

Ronaldo bye yaleka akoze mu ManU

  • Ronaldo yawangula Champions League ye esooka ku ezo ettaano z’alina ng’ali mu ManU era n’alondebwa okubeera omuzannyi asinze mu mwaka omulundi ogwasooka ng’ali ku United.
  • Omugatte yateebera ManU ggoolo 118 mu mipiira 292, ng’awangudde ebikopo bya Liigi ya Bungereza (Premier League), ekya FA Cup kimu n’ebya League Cup 2.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});