Amasomero 60 geebugira mpaka z'amasomero mu Arua
Apr 19, 2022
AMASOMERO 64 ge gasuubirwa okubbinkana mu mpaka z’omupiira gw’amasomero ga siniya ezitandika leero mu Arua.

NewVision Reporter
@NewVision
Empaka zino zaakuyindira ku Mvara SS nga kati ziyitibwa Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA Elite Schools Championship), okuva ku Copa Coca Cola nga bwe zibadde ziyitibwa okumala emyaka 30.
Amasomero1
St Mary’s Kitende, eryakutte eky’okubiri mu zisunsula okukiikirira disituikiti y’e Wakiso, lye lirina ekikopo kino ekyasemba okutegekebwa mu 2019 e Jinja olwa Covid-19.
Ku mulundi guno, Kampala yakiikiriddwa amasomero 5 okuva 4 agabadde gagiweebwa. Kawempe Muslim, St Andrews Kaggwa Gombe, Kibuli SS, Uganda Martyrs Lubaga ne Old Kampala.
Related Articles
No Comment