Liigi y'abakazi yeeyongedde ebbugumu

May 10, 2022

OBUNKENKE bweyongedde mu liigi ya babinywera ey’abakazi eya FUFA Women Super League wakati wa ttiimu 3 ezivuganya ku kikopo kya sizoni eno.  

NewVision Reporter
@NewVision

Ku Lwokusatu mu liigi y’abakazi eya FUFA Women Super League; 

Rines SS WFC-She Maroons FC  

Kawempe Muslim-Uganda Martyrs H/S  

Lady Doves FC-FC Tooro Queens  

She Corporate FC-Olila H/S WFC  

Kampala Queens-UCU Lady Cardinals   

Ku Lwomukaaga, ttiimu zonna ezivuganya esatu (3) zaawangudde emipiira gyazo egyabadde egy’obunkenke nga Uganda Martyrs eyabadde ku bugenyi e Fort Portal yamezze bannyinimu aba FC Tooro Queens 2-1, Kampala Queens FC n’emegga Rines SS 2-0 e Kabojja so nga yo She Corporate yalumye n’ogwengulu okumegga UCU Lady Cardinals ggoolo 1-0 ku kisaawe kya MUB Arena e Nakawa ku Ssande.  

Enkya ku (Lwokusatu), Kampala Queens bwe benkanya obubonero 29 ne She Corporate ku ntikko ya liigi singa zisumagira Uganda Martyrs H/S n’ewangula ensiike yaayo ng’ettunka ne Kawempe Muslim egya kuba ezze ku bubonero 30 olw’omutindo omulungi gwesitudde mu luzannya olw’okubiri.  

Ttiimu ekulembera mu liigi y’ekiikirira eggwanga mu z’ebibinja ebya Champions League w’abakyala ku lukalu lwa Afrika.  

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});