Ebbula ly'ebisaawe tulinogedde eddagala mu mipiira gy'Ebika - Ow'akakiiko

Jul 04, 2022

Oluzannya lw'okusunsulamu lwatukoze bubi olw'okutaataaganyizibwa ebisaawe naye kino tukinogedde eddagala.

NewVision Reporter
@NewVision

Emipiira gy’Ebika by’Abaganda giddamu okutojjera enkya ku Lwokusatu nga July 6 ku bisaawe eby’enjawulo oluvannyuma lw’okuzannya olusooka olusunsula ttiimu ezeegatta ku luzannya lwa 32 okuwunzikibwa.

Bino byogeddewa Gerald Katamba omuwandiisi w’empaka zino bwe baabadde bakwata obululu bw’oluzannya oluddako ku Bulange e Mmengo. Omukolo guno gwetabiddwaako abakungu b’Ebika eby’enjawulo okumanya ttiimu zaabwe be zigenda okuttunka nazo.

Katamba agamba nti, “Oluzannya olusooka lwawedde naye nga tubadde tutaataaganyizibwa ebbula ly’ebisaawe ekibadde kireetawo enkyukakyuka. Kino tutagenda kukikkiriza mu luzannya oluddako.”

Katamba ng'aliko by'ategeeza abaabadde ku mukolo.

Katamba ng'aliko by'ategeeza abaabadde ku mukolo.

Emipiira gino gigenda kuzannyibwa ku bisaawe bisatu okuli; ekya Kawanda SS, ekya Kabaka Kyabaggu mu Wakiso ne Wankulukuku era ttiimu zonna zaategedde gwe zigenda okusisinkana okutuusiza ddala ku fayinolo.

Obumu ku bululu obwakwatiddwa kuliko; Ekkobe - Kasimba, Mpeewo - Mutima Muyanja, Lugave -Njaza, Nkima - Musu, Nte -Njovu, Balangira – Ng’aali, Mbogo - Ngabi Nyunga, Mmamba Namakaka - Ngabi Nsamba, Mpindi - Kibe, Kinyomo - Namungoona Mmamba Kakoboza - Nakinsige

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});