Buddu ne Ssingo beeriga leero mu nsiitaano y'okunoonya okubonero obubaggya mu bibinja

Jul 30, 2022

OMUTENDESI omupya owa Buddu bakyampiyoni b’ekikopo ky’Amasaza ga Buganda omwaka oguwedde Ibrahim Kirya, atandikidde ku Ssingo wakati ng’anoonya wiini esooka okubbulula bannamasaka n’emiriraano.

NewVision Reporter
@NewVision

2022 Masaza Cup

Butambala – Buweekula, Kibibi SS

Kabula – Gomba, Kaliiro P.G

Mawokota – Kooki, Buwama P.G

Buluuli – Mawogola, Mijeera P.G

Buddu – Ssingo, Masaka R.G

Kyaddondo – Buvuma, Mwererwe

Ssesse – Bulemeezi, Kasekulo P.G

Busujju – Busiro, Maanyi P.G

Kyaggwe – Bugerere, Nakisunga

Bano mu mipiira ena (4) balina wiini emu yokka n’amaliri ga mulundi gumu. Ku Ssande ewedde baakubiddwa omupiira ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa nga Kyaddondo ebawangula (2-1) ku kisaawe kya YMCA e Buwambo.

Leero Ssande basisinkanye Ssingo abakulembedde ekibinja kya Masengere n’obubonero 12 mu mipiira 4, Kyadondo (7), Buddu ne Buvuma (4), Buluuli (3) ne Mawogola (3).

“Buli kimu kibadde kikolwa mu ngeri ya Ssemugayaavu y’ensonga lwaki ttiimu babadde bagiteeba ggoolo ez’amangu, Ssingo tetugitidde, balungi naye tuli waka era tugenda kukozesa omukisa ogwo,” Kirya bwe yategeezezza.

Agattako nga ttiimu bw’asuubira okugyongeramu abazannyi abalala nga babiri okuziba ebituli naddala mu kisenge era n’asaba abakungu okuli omwami wa Kabaka Jude Muleke (Ppookino) ne baakola nabo bamudduukirira mu nsonga eno.

Simon Ddungu amanyiddwa nga kkooki Ddunga atendeka Ssingo mumalirivu okuggya obubonero ku bakyampiyoni “Tetunakubwamu sizoni eno naye ekyo tekitweyinuza era tugenda kulumba Buddu ppaka ku ssaawa esembayo,” Ddungu bwe yategeezezza.

Kirya y’azze mu bigere by’omutendesi Steven Bogere eyawangulira Buddu ekikopo kya sizoni ewedde, yakwatiddwa ku nkoona wiiki bbiri emabega lwa ttiimu kwolesa mutindo gwa kiboggwe ku ntandikwa ya sizoni.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});