Kampala Queens efuuse omuteego mu liigi y'omupiira gw'abakazi

Oct 03, 2022

“Twakoze buli kimu okulaba nga tuwangula omupiira wabula abazannyi bange ne basubwa emikisa egiwera. Wabula mbeenyumirizaamu olw’obuvumu bwe baayolesezza.”

NewVision Reporter
@NewVision

Mu liigi y'omupiira gw'abakazi;

She Mak 0-1 Kampala Queens

Uganda Martyrs 1-1 She Corporate 

KAMPALA Queens, eyongedde okufuuka omuteego mu liigi y’abakazi eya FUFA Women Super League bwe yagenze e Makerere n’emegga bannyinimu aba She Mak n’eyongera okwenywereza ku kimeeza waggulu. 

Ttiimu ya Uganda Martyrs eyatandise.

Ttiimu ya Uganda Martyrs eyatandise.

Ttiimu eno yataddewo ne likodi y’okumala emipiira 20 nga tekubwamu okuva sizoni ewedde era She Mak yabadde eremeddeko, muyizzitasubwa Hasifah Nassuna n’abasala ku kagwa bwe yateebye ggoolo emu yokka ey’abawangulidde omupiira. 

Omutendesi wa She Mak, Fred Ndawula agamba nti wadde nga baakubiddwa, yamatidde omutindo abazannyi be gwe baayolesezza. “Twakoze buli kimu okulaba nga tuwangula omupiira wabula abazannyi bange ne basubwa emikisa egiwera. Wabula mbeenyumirizaamu olw’obuvumu bwe baayolesezza,” Ndawula bwe yagambye. 

Nassuuna (ku ddyo) eyateebye ggoolo eyawadde Kampala Queens obuwanguzi.

Nassuuna (ku ddyo) eyateebye ggoolo eyawadde Kampala Queens obuwanguzi.

Kampala Queens yeenywerezza ku ntikko n’obubonero 9 mipiira esatu. 

Mu ngeri y’emu, bannantameggwa ba liigi y’eggwanga eyabakazi eya FUFA Women Super League sizoni ewedde aba She Corporate bye basiba bye bikutuka oluvannyuma lw’okukola amaliri ne Uganda Matyrs e Lubaga. 

Bukya liigi eno etandika, She Corporate tennawangula mupiira gwonna mu liigi nga baakazannya emipiira 3 n’obubonero bubiri nga gye buvuddeko baakubiddwa Kampala Queens. 

Immaculate Nakanjako (ku kkono) owa Uganda Martyrs ng'attunka ne Phiona Nabbumba owa She Corporate.

Immaculate Nakanjako (ku kkono) owa Uganda Martyrs ng'attunka ne Phiona Nabbumba owa She Corporate.

She Corporate be baakikiridde Uganda mu mpaka za Champions League y’abakazi gye baayolesaza omutindo omusuffu nga baakubiddwa Simba Queens eya Tanzania ku fayinolo. Bukya bakomawo mu ggwanga, omutindo gw’abazannyi guli wansi ddala. 

Ensonda mu nkambi eno ziraga nti abazannyi tebakyagwatagana bulungi ku kisaawe olw’omutendesi Hassan Issa okukyusakyusa ttiimu ku buli mupiira. 

Guno gwabadde mupiira gwakusatu nga She Corporate tefuna buwanguzi sso nga sizoni ewedde mu kiseera nga kino, be baali bakulembedde ttebo wabula mu kaseera bali mu kyamusanvu ku bubonero 2. 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});